
Eggye lya UPDF ligudde ku nkambi egambibwa okuba nti mwemubadde mutendekebwa abayekera ba ADF mu bitundu bya Luweero.
UPDF egamba nti emaze ebbanga nga ekola okunonyereza ku nkambi eno, okutuusa lwebagiguddeko.
Omwogezi wa UPDF Brigadier Gen. Felix Kulaigye ategezezza nti enkambi yábayeekera bano erabika ng’emaze ebbanga nga bagikozesa, wabula talambuludde oba nga baliko abayeekera bebasanzeeyo.
Kulaigye ategezezza CBS nti bakyaliko ensonga zebakyetegereza ku nkambi eno, era n’asuubiza nti olunaku olw’enkya olw’okuna kwebagenda okulambululirako ebijikwatako.
Kulaigye asuubizza nti bakutwala bannamawulire berabireko ku nkambi eno.
Abayeekera aba ADF government ezze ebalumiriza nti basensedde eggwanga lino, era nti bebazze batega bbomu ezizze zifiiramu abantu abawerako, nga ne bbomu ezaakasembayo mu kibuga Kampala zaafiiramu abantu musanvu.
Mu kiseera kino UPDF eyongedde ebikwekweto ku bayeekera ba ADF ng’ebanoonya wano munda mu Uganda ne mu bibira bya Democratic Republic of Congo.