
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asaasidde abenju ya Eng Dan Ssebugwawo n’Omukyala Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo, olwokuvibwako mutabani wabwe Ronald Daniel Bunkeddeko Ssebuggwawo.
Mu bubakabwe obusomeddwa Omulangira David Kintu Wassajja mu Lutikko e Namirembe, Omuteregga asabye Omutonzi agumye emitima gy’abazadde, abaana n’emikwaano.
Ssaabasajja agambye nti “Tubeegattako okukungubagira mutabani wammwe omwagalwa Ssalongo Ronald Bunkeddeko Ssebugwawo, okufaakwe okw’ekibwatukira ku tukubye enkyukwe fenna. Tubasaasidde nnyo nnyini olw’okufiirwa omwana abadde asajjakudde, era nga mu mulinamu essuubi lingi”.
Mu ngeri yeemu asaasidde Nnalongo olw’okufiirwa Ssalongo we, era nga bombi babadde bakyali bato ddala.

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek Robert Wagwa Nsibirwa agambye nti Obwakabaka bunyoleddwa nnyo olwokuvibwako Omutabani Ronald Daniel Bunkeddeko, abadde aweereza Buganda ne Uganda mu ngeri ezitali zimu.

Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula Samuel Balagadde Ssekkadde nga yaakulembeddemu okubuulira, abuuliridde abakkiriza ku kabaate akali mu kwesiga ebirala nebateesiga Katonda wabwe, ekiviiriddeko ebikolobero mu bantu okweyongera.

Minister omubeezi owa tekinologiya Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo nga ye maama w’Omugenzi Ronald Daniel Bunkeddeko Ssebuggwawo, agambye mutabaniwe mumativu nti ali mu maaso ga Katonda, olwenkolaye ebadde ennungi eri abantu ne Katonda.

President wa Forum for Democratic Change Eng Patrick Amuriat Oboi alaze yennyamidde olwa government okulagajjalira eby’obulamu neetalowooza ku kyakuussa nsimbi zimala mu byobulamu.
Minister w’ebyamawulire n’Okulungamya eggwanga era omwogezi wa government Dr Chris Baryomunsi agambye nti embeera y’ebyobulamu mu Uganda newankubadde ekyetaaga obuvujjirizi, ne bannayuganda basaanye okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe okwewala endwadde ezeewalika.

Okusabira omugenzi Ronald Daniel Bunkeddeko Ssebuggwawo kwetabiddwako Nabagereka Sylvia Najjinda, ba Nalinnya, Abalangira, Abambejja ,abebitiibwa mu bwakabaka ne government eya wakati, ababaka ba parliament n’abantu abalala bangi.

Okusabira omugenzi bwekuwedde n’atwalibwa ku biggya bya bajjaja be e Nkumba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ntebbe gy’agalamiziddwa.
Bisakiddwa:Kato Denis