Parliament asambazze ebigambibwa nti ababaka baaweereddwa obukadde bwa shs 40 buli omu,olwémbeera yébyenfuna eyekanamye mu ggwanga, parliament egamba abasasaanya abigambo ebyo bagenderera kwonoona kifaananyi kyayo.
Omwogezi wa parliament Chris Obore agambye nti ebigambo ebyo basoose kubiwulira nga biva mu kibiina ekisinga ababaka bangi mu parliament ekya NUP.
Annyonyodde nti bwewabaawo omubaka wa NUP yenna eyafunye ensimbi ezo ,etteeka erifuga eneeyisa y’abakulembeze erya penal code Act 2002 limukakatako okuzanjula eri kaliisoliiso wa government , nábawa amagezi nti bwekiba kituufu bagende bazanjuleyo.
Okuva wiiki ewedde wabaddewo oluvuuvuumo nti ababaka ba parliament bonna 529 baweereddwa ensimbi okuva eri sipiika wa parliament Anita Among n’omumyuka we Thomas Tayebwa nti zaabadde zakubeebaza olwokuyisa embalirira eyenyongereza eyobuwumbi 617.
Ku nsimbi zino kwaliko obuwumbi 70 ezaagenda mu maka g’obwa president nendala obuwumbi 87 ezaaweebwa amagye okulwanyisa obubbi bw’ente e Karamoja n’ensimbi endala.
Kigambibwa nti obuwumbi 22 bwebwasaasanyiziddwa mu nteekateeka eno, ababaka 529 buli omu bwaba wakufuna obukadde bwa shs 40.
Kigambibwa nti ensimbi zino ababaka babadde bazinona okuva mu maka ga sipiika Anita Among e Kololo.
Ekibiina kya National Unity Platform kyalagidde ababaka bakyo bonna bazeeyo ensimbi ezo ,nti kubanga kibeera kyabulyazamaanya ababaka okwefaako bokka, nga bannansi bayita mu mbeera y’ebyenfuna enzibu.
Chris Obore asoomozeza obukulembeze bw’ekibiina kya National Unity Platform okukozesa obukiiko bwekikulembera mu parliament obulondoola ensaasaanya y’ensimbi zomuwi w’omusolo ,okulondoola ensimbi ezogerwako okusinga okudda mu mawulire.
Chris Obore era agambye nti ensimbi zonna ababaka zebafuna zikaanyizibwako olukiiko olufuga parliament olwa Parliamentary commission, ekibiina kya NUP kwekirina ababaka abatuulayo, bekyandibadde kisooka okwebuzaako.