
Obwakabaka bwa Buganda bukutte obululu bw’ebibinja eby’emipiira gy’ebika egy’okubaka, era ebika byonna ebikakasiza okwetaba mu mpaka z’omwaka guno bisengekeddwa mu bibinja 4.
Omulumi gw’okukwata obululu buno gukulembeddwamu Dr Sarah Nkonge omumyuka wa ssentebe w’omuzannyo guno ku lukiiko lw’ebika, ne Rose Kaala ow’ebyekikugu.
Omukolo gubadde mu Bulange e Mengo.
Mu kibinja A
Embwa, Engo, Omutima Omusagi, Engeye, Endiga.
Mu kibinja B
Ensenene,Ngaali, Empeewo, Engabi Ensamba, Embogo
Ekibinja C
Emamba Kakoboza, Olugave, Omusu, Entalaganya, Effumbe, Ente.
Ekibinja D
Enjovu, Emamba Gabunga, Ennyonyi Enyange, Enkima, Ekkobe.
Omupiira gw’ebika ogw’okubaka ogwaguddewo empaka zino mu ssaza Bulemeezi, Embwa yakubye Engo obugoba 26 – 25.
Dr. Sarah Nkonge agambye nti olunaku olw’okutandika emipiira gino n’ebisaawe gye gigenda okuzanyirwa bigenda kusalibwawo mu bwangu ddala, era asabye abazukulu mu bika bya baabwe okujjumbira emipiira gino basitule ebitone byabwe.
Emipiira gy’ebika egy’okubaka bucanga giddamu mu 1987, bazukulu ba Gabunga bebakyasinze okuwangula engabo eno, emirundi giri 15.
Empaka zino zino nga zizeemu okuzannyibwa,bazzukulu ba Gabunga baaziwangula emirundi 3 egidiringana mu 1987, 88 ne 89, olwo engabo nebagitwalira ddala.
Mu mwaka 1987 nga zakaddamu , Embogo yaggulawo n’Enkima, bazukulu ba Gabunga nebaziwangula.
Ennyonyi Enyange bebalina engabo eyasembayo mu 2019, baakuba bazukuku ba Gabunga obugoba 20 – 19 mu Masaka Recreation Grounds.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe