
Ba puliida béyaliko omukulembeze wa FDC Rtd Col Dr Kizza Besigye batabuse, beeweze okuwalaawala omulamuzi Asuman Muhumuza bamuwaabire mu kakiiko akafuga abalamuzi, bagamba yeyisizza mu ngeri embi nókuvumaganya ekitiibwa kyóbulamuzi.
Omulamuzi ono Muhumuza agaanye okuwulira okusaba kwa Besigye okwókweyimirirwa, olw’obudde okuba nga bubadde bugenze.
Puliida wa Besigye Elias Lukwago amunenyezza okutuuza kkooti ekikeerezi, ate nábamma omukisa ogwókuteekayo okusaba kwabwe.
Dr Kizza Besigye azzeeyo mu kkomera e Luzira oluvannyuma lwa kkooti ya Buganda Rd okumuggulako omusango gwókukuma omuliro mu bantu omulundi ogwókubiri.
Ku luno Besigye avunaaniddwa bumu ne munnabyabufuzi Samuel Walter Lubega Mukaaku, era bombiriri baasuze mu kaduukulu ka police e Naggalama.
Olwaleero baleeteddwa mu maaso gómulamuzi Asuman Muhumuza, wabula ekyewuunyisa baleeteddwa mu kkooti essaawa 12 ez’akawungeezi.
Besigye yakwatiddwa eggulo ne Lubega Mukaaku wakati mu kibuga Kampala, nga kigambibwa baabadde bakunga abantu beekalakaase nga bawakanya ebbeeyi yébintu eyekanamye.
Oludda oluwaabi lulumiriza nti omusango guno Besigye ne munne baaguzzizza nga 14 June mu Kikuubo ne Shauriyako mu Kampala.
Embeera eno eyémiwendo gyébintu okulinnya yatandiikiriza mpola mu November omwaka oguwedde, amafuta ge gaasooka eliita eyali ku 3500 néjja ngérinnya kati eri 5800, ekyaddirira butto ne ssabbuuni, we lutuukidde leero ngémiwendo kumpi gikubisiddwamu.
Bwatyo omulamuzi abasindise ku alimanda e Luzira okutuuka ku lwokutaano nga 17 June ,2022.
Abawagizi be batabuse nebatandika okuyimba ennyimba ezikoona omulamui nga bwebamugamba okufuna akafa nsonyi ayimbule omuntu wabwe.
Bibadde bikyali awo newabaawo abantu 5 abakwatiddwa wabweru wa kkooti, babadde beekalakaasa nga bawakanya ekyókutwala Besigye e Luzira.
Wabula abakwate bano tebategeerekese bulungi bibakwatako, kyokka babadde basajja 3 nábakazi 2.
Besigye abadde kyájje aggyibwe mu kkomera wiiki ngému eyise ku misango gyégimu egyekuusa ku kwekalakaasa olwébbeeyi yébintu eyeekanamye.
Kwolwo omulamuzi yali amulagidde asasule akakalu ka bukadde 3, n’abuwakanya kooti yakakendeeza n’asasula obukadde busatu.
Bisakiddwa:Betty Zziwa