
Eyaliko omubaka wa parliament ng’akiikirira Kazo Constituency Gordon Bafaki afiiridde mu kabenje ka mmotoka akagudde ku luguudo lwa Northern Bypass.
Mmotokaye Toyota landcruiser TX NO. UBD 965 / E etomedde lukululana NO. ABZ539/Z Benz Trailler.
Omugoba wa lukululana munnansi wa Kenya Bahaji John akwatiddwa nga kigambibwa nti akabenje wekabeereddewo abadde avugira wakati mu kkubo.
Omuduumizi wa poliisi y’ebidduka mu Kampala Rogers Kauma Nsereko, ategeezezza nti omubiri gw’omugenzi gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago.
Gordon Bafaki yakiikirira Kazo Constituency mu parliament eyekkumi, wabula mu kalulu akawedde aka 2021 yameggebwa Dan Kimosho aliyo kati.
Kigambibwa nti wafunidde akabenje mu bitundu bye Naalya, abadde ava mu district ye Kiruhura ng’adda mu makaage e Namugongo Kira.
Kitegerekese nti yoomu ku babadde ku kakiiko akateekateeka okwaniriza omuduumizi w’amagye ag’okuttaka era mutabani w’omukulembeze w’eggwanga, Gen. Muhoozi Kainerugaba, mu district ye Kiruhura.