
Abasomesa abegattira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Teachers’ Union batandise akediimo mu masomero ga government agawerako, bemulugunya ku kya government okulwawo okubongeza emisaala.
Gyebuvuddeko abasomesa ba science bebaasooka okwekalakaasanga bagala bongezebwe emisaala nga bwekiri ku bannascience abalala, gyebyagwera nga government esazeewo okubongeza emisaala mu mbalirira eyasomeddwa olunaku lwajjo.
Kati abasomesa abasigadde naddala abasomesa amasomo ga Arts bagamba nti kuno kuberwa kusosolwa kwennyini, so nga government ezze ebasuubiza netatuukiriza.
Omu ku bakiikirira abasomesa mu Kampala ku kibiina kya UNATU Vincent Wamboka agambye nti government yabasuubiza mu mbalirira ya 2019 /2020 okubawa obuwumbi 524 bongezebwe omusaala, wabula yabawaako 135.
Wamboka agambye nti okuva olwo bazze bajjukiza government ku nsimbi obuwumbi 389 ezaasigalayo, nga buteerere.
Agambye nti ebbaluwa eyasembayo okujjukiza government yawandiikibwa omwaka guno nga 24 February, wabula tebaddibwangamu.
Abasomesa mu masomero n’amatendekero g’abasomesa bagala wakiri asembayo okufuna entono awebwe shs 1,350,000/= ate owa waggulu afune obukadde 12,000,00p/=.
Omwogezi wa ministry y’ebyenjigiriza Dr.Denis Mugimba agambye nti abakulembeze b’abasomesa bagenda kusisinkana ssaabaminister Robinah Nabbanja olwaleero, era ebinaava mu nsisinkano eno byebinaasalawo ekiddako.