
President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni era alagidde abantu bonna abeesenza mu ntobazi baazamuke bunnambiro, ngómukono ogwécuuma tegunavaayo.
Agambye nti bano bebavuddeko enkyukakyuka y’embeera yobudde evuddeko ekyeya mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, ekiremeseza abantu okulima emmere emala.
President Museveni abadde mu kisaawe e Kololo ku mukolo gwókusoma embalirira yéggwanga, eya trillion 48 nóbuwumbi 130.
Museveni agambye nti okugyako abantu be Busoga bagambye nti entobazi baazisengamu mu biseera byabafuzi bamatwale, nti bano government erina okumala okubaliyirira baziveemu.
Agambye nti abantu abalala abeesenza mu ntobazi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga naabo abeesenza mu ntobazi eziri mu Kampala nemiriraano bazaamuke bunnambiro, bwekirema bakusindiiikirizibwa
Museveni agambye nti ebyekisa biweddewo.
Museveni alu𝝶amizza nti tewali kizibu eggwanga lino lyekitasobola kwa𝝶anga singa libeera n’emmere emala, nólwekyo tebayinza kukwasa kisa bantu besenza mu ntobazi kwonoona buttonde bwansi.
Agambye nti emmere erina okuliisa bannansi n’okutunda mu mawanga amalala okwefunira ensimbi, neyewuunya nti Abafirika batendereza ebizibu byayise ebitaliimu makulu, nebeeerabira nti ekizibu ekisinga obunene lyebbula lyémmere
Mu ngeri yeemu President alangiridde nti wakuwolereza n’amaanyi ge gonna, minister wa science ne tekinologiya Dr Monica Musenero, olwábantu abamulumiriza nti mulyake.
Dr. Monica Musenero ennaku eziyise, abadde ku bunkenke olwa alipoota eyamukolebwako mu parliament eyalaga nti ensimbi zeyafunanga okunoonyereza nókuvumbula eddagala lya Covid19, nti yazibulankanya.
Museveni alabudde nti abo abawalampa Dr Musenero, banuune ku vvu.