
Captain wa ttiimu eyómuzannyo gwókubaka eya She Cranes, Peace Proscovia, alondeddwa ng’omuzannyi asinze banne okubaka season ewedde, mu club ya Surrey Storm gyácangira omupiira ogwénsimbi mu liigi ya babinywera eya Bungereza.
Proscovia alondeddwa bazannyi banne kungule eya ‘Players Best Player of the season Award’.
Mungeri yeemu Peace Proscovia era club yeemu emulonze nga omuzannyi asinze okweyisa obulungi ate nókukolagana obulungi ne bazannyi banne ku ngule ya ‘Fairest Award’.
Bino bigidde mu kiseera nga omuzannyi yoomu yakalamala okufuna engule ya Gilbert Golden Shot Award, ewebwa omuzannyi eyasinga banne okuteeba goolo ennyingi mu liigi ya Bungereza eya ‘Vitality Super League’.
Peace Proscovia yateeba goolo 853 okuva mu mizannyo 20 era nalondebwa ne ku ttiimu eyabazannyi 7, eyasinga okukola obulungi season ewedde.
Peace Proscovia kati egenda kuzaako olutabaalo lwókukulemberamu ttiimu ya She Cranes, egenda okukiikirira Uganda mu mpaka za Commonwealth Games ezigenda okubeera e Birmingham Bungereza omwezi ogujja ogwa July 2022.