
Banna Uganda abawangalira mu America, batenderezza emirimu gyabadde omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu ssaza ly’e Califonia mu America, Omugave Joseph Ndugwa Ssemakula, eyavudde mu bulamu bwensi eno ku lw’okuna lwa wiiki ewedde.
BannaUganda baku𝝶aanidde mu maka gómugenzi e California, nga bakulembeddwamu omulabirizi w’essaza lye California, Bishop Azaria Baryomunsi, okusabira omugenzi.
Bagambye nti omugenzi abadde musaale nnyo okukumakuma banna Uganda abali emitala w’amayanja, n’okubaagazisa ebyewabwe n’okuwagira enkulakulana mu Uganda.
Bishop Baryomunsi era agambye nti omugave Ndugwa, yakola kinene okugatta abantu ba Ssabasajja Kabaka mu Ssaza lye California, era nga ayambyeko naabantu bangi okufuna obutuuze, nókufuna ebifo webasula.
Omubaka wa Ssabaasajja mu Seattle, Owekitiibwa Moses Mayanja, agambye nti omugenzi yakola kinene okutebenkeza bannauganda ababeera mu ssaza lye Califonia mu America, n’okubudamya ababadde bagendayo omulundi ogusooka.
Nnamwandu w’omugenzi nga ye Elizabeth Ssemakula, agambye nti omugenzi Ndugwa yali yafuula amaka gabwe ekku𝝶aanyizo ly’ebyobuwangwa bwa Buganda, nga neemikolo mingi ejikwata ku bwakabaka jibadde jitegekebwa wabwe.
Ssentebe w’akakiiko ka Buganda twezimbe, John Fred Kiyimba Freeman, mu bubaka bwatisse memba woolukiiko, Omukungu Jeff Sserunjoji nnanyini masomero ga St Juliana, ku mukolo guno, agambye nti omugenzi yakola kinene okuku𝝶anya ensimbi ze tofaali, ezaasobozesa Obwakabaka okuzimba ekizimbe kya Masengere n’okuzaawo amasiro.
Abantu abenjawulo betabye mu kusabira omugenzi omugave Ndugwa Joseph Ssemakula, nga n’abamu baabadde ku mitimbagano.