
Ministry y’eby’obulamu ekakasizza nti okugema abaana abali wakati w’emyaka 12 -17, kwakukolebwako mu kiseera eky’oluwummula.
Okugema abaana ekirwadde kya Covid 19, kwalina okubaawo mu ntandikwa y’olusoma luno olw’okubiri olwatandika nga 9 omwezi ogw’otaano, nga baali baakusangibwa mu masomero.
Ministry y’eby’obulamu egamba nti yalemereddwa okutuuka ku kukaanya okwamangu ne ministry y’eby’enjigiriza ku nteekateeka yokugemesa abaana, ministry y’eby’obulamu esazeewo okugema abaana kukolebwe mu luwummula.
Dr. Jane Ruth Aceng Ocero, minister w’eby’obulamu, bino abyogeredde ku mukolo omubaka wa German, Matthias Schauer, ne Dr. Yonus Tegegn Woldermariam, akulira ekitongole kyensi yonna eky’eby’obulamu mu Uganda, kwebakwasirizza Uganda “cylinder za oxygen” omugatte 2,800 ne bokisi z’empiso ezikozesebwa mu kugema Covid, obukadde 48, ogubadde ku kitebe kya ministry y’eby’obulamu.
Kati Uganda ewezezza Cylinder za Oxygyen 10,000 mulamba okwetoloola eggwanga lyonna.

Omwaka mulamba oguyise obunkenke bwasaanikira Uganda olwébbula lya cylinder za Oxgyen, so ngóbulwadde bwali busaasaanira ku misinde miyitirivu, era abantu bangi baafa olwókulemererwa okussa obulungi, olwámalwaliro obutaba na mukka.
Mu ngeri yeemu Dr. Daniel Kyabayinze, director avunanyizibwa ku by’obujjanjabi eby’olukale mu ministry y’eby’obulamu, agamba nti Uganda ebadde n’obwetaavu bw’empiso ezikozesebwa mu kugema abantu naddala mu kiseera kino ng’obulwadde buzeemu nate okusaasaana.
Akulira ekitongole ky’ensi eky’eby’obulamu mu Uganda, Dr Yonus Tegegn Woldermariam, agamba nti obuvujjirizi obuwereddwa Uganda bubalirirwamu emitwalo 69.
Omubaka wa Germany mu Uganda, Matthias Schauer, agambye nti obuvujjirizi buno nyongereza ku bukadde bwa doola 9 n’emitwalo 90 ezeddagala lya Johnson and Johnson, Germany lyeyasoola okuwa Uganda mu lutalo lw’okulwanyisa Covid 19.
Bisakiddwa : Ddungu Davis