Embalirira yomwaka gwebyensimbi 2022/2023 ya trillion 48 n’obuwumbi 130, erinnye okuva ku trillion 44 n’obuwumbi 778 ey’omwaka gwebyensimbi guno 2022/2023 ogugenda okugwako.
Ey’omwaka ogujja yeyongedde trillion 3 n’obuwumbi 317.
Minister w’ebyensimbi Matia Kasaija embalirira eno agisomedde mu lutuula lwa parliament olutegekeddwa mu kisaawe e Kololo, lwetabiddwamu omukulembeze w’eggwanga Gen.Yoweri Kaguta Museven.
Parliament yeemu ku bitongole ebyayongeddwa ensimbi nga yafunye obuwumbi 724.
Yayongeddwako obuwumbi 193 ezigenda okwongeza ensako y’ababaka okuli amafuta nebirala.

Ebyobulamu n’ebyenjigiriza bifunye trillion 8 n’obuwumbi 740 buli kimu, mu mwaka gwebyensimbi ogujja 2022/2023 okuva ku trillion 7 n’obuwumbi 598 ez’omwaka ogugenda okugwako.
Ensimbi ezo ezirinnye zezigenda okwongeza emisaala gy’abasawo n’abasomesa bannascience.
Ebitongole by’okwerinda bifunye trillion 7, okuva ku trillion 6 n’obuwumbi 971.
Essiga eddamuzi nebyamateeka lyayongeddwa nalyo ensimbi okuva ku buwumbi 373 okudda ku buwumbi 393.
Ebitongole okuli ebya science ne tekinologiya n’obuyiiya ensimbi zaabyo zakendezeddwa okuva ku buwumbi 344 zebyafuna omwaka 2021/2022 okudda ku buwumbi 20 mu 2021/2022.
Ebyobulimi n’okwongera omutindo ku birimibwa, nazo ensimbi zaasaliddwa okuva ku trillion 1 n’obuwumbi 686, okutuuka ku trillion 1 n’obuwumbi 269.

Ku mulundi guno government teyongezza misolo, yadde okuleeta emisolo emipya.
Ensonga ezigenda okussibwako essira kuliko okutumbula enfuga etambulira mu mateeka.
Okulwanyisa enguzi okuyita mu wofiisi ya kaliisoliiso muteereddwamu obuwumbi 95.
Okusinziira ku minister Kasaija obuwumbi 3 bwokka mu mwaka guno zezinunuddwa okuva mu bakozi abanyaga sente za government, wabula nti zino ntono nnyo ensimbi endala ababbi bakyazirina era zetaaga okununulwa.
Okubbulula ebyenfuna, okusitula amakolero agakwata ku by’obulimi,eby’amafuta ne gas,ebyentambula n’ebyempuliziganya, okubangula abakozi,eby’obutebenkevu n’ebirala.
Ku bbanja eribanjibwa Uganda ,Government erangiridde nti December w’omwaka 2021 weyatuukira, Uganda yali ebanjibwa trillion 73 nobuwumbi 500.
Trillion 45 n’obuwumbi 720 zewolebwa okuva ebweru w’eggwanga saako trillon 27 n’obuwumbi 770 ezewolebwa wano munda mu ggwanga.
Mu mbalirira yeemu eya trillion 48 n’obuwumbi 130, government egenda kusaasaanya trillion 17 okusasula ku mabanja ago, nga kuliko trillion 6 ezokusasula amagoba agaagaasibwako.