
Eyaliko president wa FDC nga kati mukulembeze wékisinde kya Peoples Front For Transition Col Kizza Besigye kifefe asuze mu nkomyo, oluvanyuma lwókukwatibwa Police nga yekalakasiza mu kibuga Kampala olw’ebbeeyi yébintu eye Kanamye.
Police egamba nti Besigye bamutelese Naggalama era nga bagenda kumuggulako omusango gwókukuma omuliro mu bantu.
Omwogezi wa Police mu Kampala némiriiraano Patrick Onyango agambye nti Besigye anyoomodde amateeka nókutatataganya emirimu mu kibuga, nti kubanga abadde yakayimbulwa ku kakalu ka kooti.
Onyango mu ngeri yemu alabudde banna byabufuzi abakuba enkungaana ezimenya amateeka nti bagenda ku kwatibwa baggalirwe.
Besigye okukwatibwa nga wakayita wiiki emu yokka ng’ayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira, gy’abadde amaze wiiki ezikunukkiriA mu bbiri.
Besigye yali yakwatibwa mu nsonga yeemu ey’okukuma omuliro mu bantu bekalakaase w’ebbeyi y’ebintu eri waggulu.
Wabula omulamuzi bweyamusalira akakalu akoobuliwo ka shs obukadde 30, yerema okuzisasula natwalibwa mu kkomera.
Yajulira olw’akakalu ako era oluvannyuma kooti yamuyimbula ku kakalu ka bukadde busatu, oluvannyuma nayiimbulwa.