
Sipiika wa parliament Anita Among awadde ababaka ba parliament wiiki bbiri, baddeyo bekennneye ebitundu byabwe byebakiikirira okuzuula oba nga biteekeddwateekeddwa bulungi okuganyulwa mu nkola ya parish development model egenderera okuggya abantu mu bwavu.
Anita Among asinzidde mu kisaawe ky’amefuga e Kololo, n’alagira ababaka oluvannyuma lw’embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2022/2023 okusomebwa.
Mu mbalirira yómwaka guno government essira eritadde ku nteekateeka eno, esuubirwa okukyusa obulamu bwa bannauganda.
Government werutuukidde olwaleero, nga yakagisaasaanyizaako obuwumbi 26.
Obuwumbi 147 ministry yebyensimbi egamba nti zezakagenda mu saccos zémiruka, so nga obuwumbi 166 zigenze ku bakozi abateekesa mu nkola enteekateeka eno, eya Parish development model.
Omwaka gwebyensimbi ogujja 2022/2023, Parish development model essiddwamu trillion 1, nga buli muluka gugenda kuweebwa obukadde 100.
Minister w’ebyensimbi Matia Kasaija bwábadde asoma embalirira eno, agambye nti yesigamiziddwa ku miramwa esatu;
Kuliko okuggya bannansi mu bwavu, okunogera eddagala ebbeeyi yébintu eyekanamye, saako okubbulula ebyenfuna by’eggwanga naddala business z’abantu ezaakosebwa omuggalo gwa covid19.
Kasaija agambye nti wabula ebbeyi yébintu government terina busobozi bujiyingiramu butereevu, nti olwókuba ereeteddwa lutalo lwa Russia né Ukraine, wamu nébbeyi yámafuta ku katale kénsi yonna okulinnya.
Wabula bakwesigama ku nkola ya Parish development model okwongera ensimbi mu business entonotono nénnene, abantu bongere ku nnyingiza yabwe.