
Obwakabaka bwa Buganda butenderezza nnyo emirimu ejikolebwa ennyumba ya Eng Ssebugwawo ne Oweek Joyce Juliet Naboosa Ssebugwawo minister omubeezi owa Mawulire ne Technology mu gwanga n’okusingira ddala okukulakulanya abavubuka .
Bino byogeddwa omumyuka asooka owa Katikkiro Owek Haji Dr Twaha Kawasse Kigongo bwabadde agenze okusasira wamu n’okugumya ba Ssebugwawo mu maka gabwe e Naalya , abaafiiriddwa omutabani kulwo mukaaga oluwedde.

Omugenzi Ssalongo Ronald Ssebugwawo Bunkeddeko abadde mutabani w’Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebugwawo ne Eng Ssebugwawo afiiridde ku myaka 40.
Omubiri gwo Mugenzi gwa gwakutwalibwa mu maka gabakadde e e Naalya olunaku olwenkya olw’okubiri.
Asuubirwa okuziikibwa ku biggya bya bajjajabe e Nkumba mu Busiro ku lwokutaano lwa wiiki eno
Mu ngeri yemu Owek Kawaase atenderezza emirimu ejikolebwa ennyumba ya Bassebugwawo naddala mukukumakuma abavubuka n’okubayigiriza eby’enkulakulana.

Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebugwawo minister omubeezi owa Mawulire ne Tekinologiya asabye abantu okwongera okubasabira, kubanga ekiseera kyebalimu kizibu ddala
Abantu abenjawulo bagenze okusasira no kugumya abenyumba ya Ssebugwawo okuli Namasole Damalie Nantongo Muganzi ,Nnabagereka, sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule ,Minister wa Mawulire Olukiiko era omwogezi w’Obwakabaka Owek Noah Kiyimba ,Kojja wa Kabaka Ssabaganzi Emmanuel.
Abakulembeze ba CBS nga bakulembeddwamu Ssenkulu Micheal Kawoya ,akulira eby’emirimu Robert Kasozi, akulira emikutu gya CBS egyokumutimbagano Aisha Nakalema, kalondoozi w’ebitabo bya cbs Mukyala Muwonge n’abalala.
Bisakiddwa :Nakato Janefer