
Essomero lya St John’s Senior Secondary School erisangibwa mu Kaliiro town council mu district ye Lyantonde liggaddwa okumala embaga lya wiiki bbiri, okunoonyereza ekyaviiriddeko abayizi okwekalakaasa.
Ab’ebyokwerinda baliko abayizi abawerako bekutte bagiyambeko mu kunoonyereza.
Ab’ebyokwerinda nga bakolagana wamu n’abebyenjigiriza basiibye basunsula abayizi abateeberezebwa okwenyigira mu kwekalakaasa kuno.
Balagidde abayizi buli omu okuwandiika gweyalabye nga yenyigira mu kwekalakaasa, omwo mwebasusunsudde abatwaliddwa ku police ye Lyantonde.

Abakulembeze mu district ye Lyantonde abakulebeddwamu RDC Godfrey Mbeitejerize, ne Ssentebe wa district Fred Muhangi, bagala abakulira amasomero okwongera okwekennenya embeera z’abayizi babwe, nga besigama mu byebazze bayitamu okuva lwebaava mu muggalo ogw’emyaka ebiri egwaleetebwa covid 19.

Mu bbaga lya myezi ebbiri amasomero abbiri okuli erya Ian College ne St John’s Senior Secondary School mu Lyantonde bekalakaasizza nebonoona ebintu.
Ebimu ku byonooneddwa mulimu tanka y’amazzi,endabirwamu z’amadirisa, ebyuma ebizikiriza omuliro n’ebirala.
Bisakiddwa : Kanwagi Baziwaane