
Leero giweze emyaka 23 bukyanga munnabitone Tonny Ssengo ava mu bulamu bwansi.
Tonny Ssengo yafa nga 13 June,1999.

Ssengo yakubanga kumpi buli kivuga kya band.

Yayiiya ennyimba eziwerako omuli; Emmere esiridde, Kangedde nga munoonya,Ssamba Ssamba endongo, Bwosika ekitajja n’endala nyingi.

Munnamawulire Hassan Badru Zziwa Luzige agamba nti mu 1991 Ssengo yayawukana ne Afrigo Band naddayo neyegatta ku Big Five band.

Oluvannyuma lw’emyaka ena, Tonny Ssengo yatandikawo band ye eyayitibwanga Badindaz mu 1995.
Bikungaanyiziddwa : Tamale William