
Amyuka omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyensimbi era avunanyizibwa ku kittavu ky’eggwanga Patrick Ochailap akkiriza nti yakola nsobi obuteekeneenya biwandiiko, ebikwata ku nsimbi obuwumbi 10 nóbukadde 600, ezawebwayo okuliyirira abantu abagambibwa nti government yabatwalako ettaka lyabwe.
Ensimbi zino zaasabibwa eyali minister w’ebyettaka mu kisanja ekyaggwa Betty Olive Namisango Kamya Turyomwe.
Patrick Ochailap asinzidde mu kakiiko ka parliament akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya government aka COSASE, akakulemberwa omubaka wa Nakawa West Joel Ssennyonyi.
Annyonyodde nti ebbaluwa minister Betty Kamya gyeyawandiika okusaba ensimbi ezo, teyajekennenya kimala okukakasa nti yali eyungiddwako ekiragiro kya president ekyókuliyirira bannyini ttaka.
Ochailap akkiriza nti n’okutuusa kati wadde ensimbi yaziwaayo eri akakiiko k’ebyettaka nezisasulwa, nókutuusa kati ekiragiro kya President ekyogerwako nti minister betty Kamya kweyasinziira okusaba ensimbi ezo, takirabangako.
Keith Muhakanizi eyali omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyensimbi era eyali evunanyizibwa ku kittavu ky’eggwanga kati, nga ye muteesiteesi omukulu mu woffiisi ya ssaabaminisita abuulidde akakiiko, nti ye ensimbi zino obuwumbi 10 ekiseera webwafulumira, teyaliiwo yali mu ddwaliiro ng’obulwadde bumuli bubi.

Keith Muhakanizi naye akikaatirizza nti ensimbi ezo zaasabibwa mu bukyamu, nti kuba minister ssi yeyalina obuvunanyizibwa okuzisaba, wabula eyali ssentebe wákakiiko k’ebyettaka Beatrice Byenkya Nyakayisiki yeyalina okuwandiika ng’asaba ensimbi ezo sso ssi minister.
Wabula Betty Kamya kati nga ye kaliisoliiso wa government bweyali mu kakiiko kano, yategeeza nti okusaba ensimbi ezo yasinziira ku kiragiro kya president Museven, kyatanaba kuleeta wadde nga kyamulagirwa.
Mu ngeri yeemu minister w’ebyensimbi Matia Kasaija bweyalabikako eri akakiiko kano, naye yakkiriza nti ensimbi ezo obuwumbi 10 yaziyisa názisaako omukono ziwebweyo, wadde nga yali tasoose kwekennenya kimala ebiwandiiko ebyali bisaba sente ezo.
Abantu mukaaga bebaliyirirwa ensimbi ezo obuwumbi 10 nóbukadde 600, okuli Kasiya Rwabukkurukuru owe Sheema obuwumbi 6 nóbukadde 430, Nagenda Stephen Peter owe Kibaale Bwanswa akawumbi 1, Busuulwa owé Buyaga akawumbi 1 nóbukadde 400, Natalia Namuli owe Buyaga Kibaale akawumbi 1 nóbukadde 600, Yisika Lwakana owe Buyaga Kibaale akawumbi 1 nóbukadde 125, ne Mugisha owe Buyaga Kibaale akawumbi 1 nóbukadde 149.