
Abantu 10,000 bebagenda okuwandiisibwa okwegatta ku ggye ly’eggwanga erya UPDF.
Ku bano kuliko abasirikale abaabulijjo ba mukonokono 8,300, abasawo b’amaggye 100, abavuzi b’ennyonyi zaamagye 600, ba dereeva ne ba makanika 1000.
Omuva mu mwaka gwa 2004, UPDF yatandika okuwandiisa abakugu abenjawulo mu bitongole byonna ebyeggye ly’eggwanga.
Abasirikale ba mukonomukono bakutandika okuwandiisibwa okuva ku lw’omukaaga olujja nga 18 omwezi guno okutuuka nga 4 July 2022, mu bitundu bya district ezeenjawul.
Abasawo bakuwadiisibwa wakati wa nga 30 June ne nga 1 July ku kisaawe e Kololo.
Ba makanika ne badereeva 1,000 nabo, baakuwandiisibwa wakati wa nga 30 June ne 1 July mu nkambi y’amagye eya Gadhafi Barracks e Jinja.
Mu kiseera kyekimu abasirikale 600 ab’eggye ly’omubbanga Airforce nabo baakuwandiisibwa mu kisaawe ky’amefuga e Kololo.
Ayogerera amaggye Bridg. Felix Kulayigye, agambye nti kino kikoleddwa okusobozesa emirimu gyamaggye okutambula obulungi, era kino bakikolera mu tteeka lya UPDF, akawaayiro aka 51 naka 52.