
Club ya BUL esitukidde mu mpaka za Uganda Cup, ekubye club ya Vipers goolo 3 – 1.
Omupiira guno guzanyiddwa mu kisaawe kya King George Stadium e Masindi.
Goolo eziwadde BUL obuwanguzi ziteebeddwa Karim Ndugwa atebyeko 2 mu dakiika eya 28 ne 53 ne Simon Oketch ateebye mu dakiika ya 42.
Goolo ya Vipers eteebeddwa Halid Lwaliwa mu dakiika eya 71.
BUL kati yegenda okukiikirira Uganda mu mpaka za Africa eza CAF Confederation Cup sizoni ejja.
Vipers eremereddwa okukola likoda y’okuwangula ebikopo 2 mu sizoni emu, okuli ekya Uganda Premier League kye yawangula edda ne Uganda Cup
Club endala okuli Express mukwano gwabangi, SC Villa Jogo Salongo ne KCCA likoda eyo zaagikolako.
Kino kye kikopo kya BUL FC ekisoose mu myaka 15 gye yakamala, ate era gwe mulundi ogugenda okusooka okukiika mu mpaka za Africa.
Empaka zino zibadde za mulundi gwa 48.
Karim Ndugwa owa BUL yasinze okuteeba goolo ennyingi 9, Emmanuel Kalyowa owa BUL yasinze okukwata goolo, Walter Ochola era owa BUL yasinze okuzibira obulungi, ate nga Simon Peter Oketch owa BUL ye muwuwutanyi asinze.
Vipers yeyakiwanguka ekikopo kino omwaka oguwedde 2021, bwe bakuba era club ya BUL goolo 8 – 1.
Guno gubadde mulundi gwakuna nga Vipers ekubwa ku luzannya olwakamalirizo mu mpaka zino, mu 2012 yakubwa URA, mu 2013 yakubwa Victoria University ate mu 2018 yakubwa KCCA.
BUL FC egenda kufuna ensimbi obukadde 50 ate Vipers egenda kufuna ensimbi obukadde 25.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe