
Ttiimu ya Uganda ey’omupiira ogw’ebigere ey’abakazi eya Crested Cranes esitukidde mu mpaka za Cecafa Senior Women Championships ez’omwaka guno 2022.
Crested Cranes ekubye Burundi goolo 3 – 1, newangula ekikopo ekisoose ekye mpaka zino.
Zibadde ziyindira mu kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru.

Goolo eziwadde Uganda obuwanguzi ziteebeddwa Sandra Nabweteme atebyeko goolo 2 mu dakiika ey’okubiri ne 90, ate Fazila Ikwaput nateeba mu dakiika eya 44.

Sipiika wa parliament ya Uganda Anita Among, yabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno, era yakwasizza ttiimu eno ekikopo n’emidaali.

Omupiira guno gwetabidwako ne yaliko omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, president wa FUFA Eng Moses Magogo nabalala.
Empaka zino zetabiddwamu ttiimu 8, Ethiopia ekutte ekifo kya kusatu bw’ekubye Tanzania goolo 2 – 1.
Omuzannyi wa Crested Cranes Fazila Ikwaput yalondeddwa ng’omuzannyi asinze banne okucanga endiba.

Opa Clement owa Tanzania yasinze okuteeba goolo 7, Daisy Nakaziro owa Uganda yasinze okukwata goolo,ate Tanzania yesinze okuba n’empisa mu mpaka zino.
Guno gubadde mulundi ogusoose Uganda okutuuka ku luzannya olwakamalirizo, nga mu 2016 yakwata ekifo kya 4 ate mu 2018 ne 2019 yakwata ekifo kya kusatu.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe