
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naatongoza empaka z’emipiira gy’ebika by’Abaganda ez’omwaka 2022, Engo newangula Embwa.

Bazzukulu ba Muteesaasira ab’engo bateebye goolo 4, ate aba Mutasingwa bateebye 2 mu mupiira ogw’ebigere.
Mu mupiira ogw’okubaka ab’embwa bayingizza obugoba 26 ate ab’engo 25.
Namungi w’omuntu ayose buliro emipiira gino egiyindidde ku kisaawe e Kasana Luweero mu ssaza Bulemeezi.

Ggoolo z’Engo ziteebeddwa abazannyi okuli Senabulya Frank 2, Ssekiranda Derrick 1 ne Lubowa Jonah Micheal 1.

Ate goolo z’embwa ebbiri ziteebeddwa Ivan Bagenda.
Omupiira nga tegunatandika Nnyininsi empologoma ya Buganda ng’ebugiriziddwa omumyuka asooka owa Katikkiro Owek.Prof. Hajji Twaha Kigongo Kawaase ne ba minister abakulembeddwamu omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule ne Bajjajja abataka ab’obusolya , asambye omupiira ng’akabonero akalaga nti empaka zitongozeddwa.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek Twaha Kawaase Kigongo asabye abazzukulu okwongera okuwagira ebika n’enteekateeka endala zonna ez’obwakabaka.

Minister w’abavubuka ebyemizannyo n’Okweewummuza mu Bwakabaka Owek Henry Ssekabembe Kiberu agambye omupiira gwa leero guwadde ekifaananyi ekirungi eky’Obwakabaka okwongera okusitula bannabitone, naasaba abakulembeze ku buli mutendera okwongera obuvujjirizi.Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi olw’empaka z’Ebika by’Abaganda Owek Sulaiman Magala asabye abavuganya okukuuma empisa.
Omutaka Gguluddene Mutasingwa jajja w’akasolya ow’ekika ky’Embwa agambye nti kyakoze akikoze bwafuntudde Engo mu mpaka z’abakyala ez’okubaka.
Omutaka Mutesaasira Keeya Tendo Namuyimba, jajja w’akasolya ak’Engo alabudde nti ku lino ekikopo ekyetaaga nnyo, era nti wakufafaagana n’ebika ebisigaddeyo nga bwakubye Embwa goolo 4 nnambirira(Engo yakakiwangula omulundi gumu mu 2001).
Omutanda omupiira oluwedde n’asiibula abantu be nadda mu lubiri lwe.
Yonna gyayise abantu babadde bakwatiridse ku makubo, abalala balinnye ku miti n’amayumba okumulengerako.
Abato n’abakulu bazze okulaba ku Mpalabwa.
Abagoba ba bodaboda mu Bulemeezi bamuwerekedde okuva e Kasana okutuuka mu Kampala.
Ebika ebizze biwangula engabo y’empaka z’omupiira okuva mu 1950:
1950: Mbogo
1951: Ngabi Nsamba
1952: Mmamba Gabunga
1953: tezaazaanyobwa
1954: tezaazaanyibwa
1955: Kkobe
1956: Mmamba Gabunga
1957: Nyonyi Nyange
1958: Ngeye
1959: Mmamba Gabunga
1960: Ffumbe
1961: Bbalangira and Kkobe
1962: Nkima
1963: tezaazaanyibwa
1964: Mmamba Gabunga
1965: Mmamba Gabunga
1987: Ngabi Nsamba
1988: Lugave
1989: Mmamba Gabunga
1990: Lugave
1991: Ngeye
1992: Ngeye
1993: Nkima
1994: Mmamba Gabunga
1995: Lugave
1996: Mpindi
1997: Nnyonyi
1998: Lugave
1999: Lugave
2000: Mpologoma
2001: Ngo
2002: Mpologoma
2003: Mmamba Gabunga
2004:Lugave
2005: Ffumbe
2006: Mpindi
2007: Ngabi Nsamba
2008: Kkobe
2009: Ffumbe
2010: Nte
2011: Mmamba Gabunga
2012: Ngeye
2013: Ngabi Nsamba
2014: Mmamba Gabunga
2015: Mbogo
2016: Nte
2017: Nte
2018: Nkima
2019: Mbogo
Bisakiddwa:Kato Denis ne Issah Kimbugwe
Ebifaananyi: Musa Kirumira