Abagoba ba Bodaboda mu gombolola ye Kawempe bavudde mu mbeera nebaleka minister omubeezi owa Kampala mu luku饾澏aana, nga bamulanga okukozesa olulimi lwebagambye nti lubadde lubavoola n鈥檕kubalengezza.
Abagoba ba bodaboda abasukka mu 600 babadde baku饾澏aanidde mu bitundu bye Kawempe, 聽okuwuliriza minister omubeezi owa Kampala ku ngeri gyebalina okutereezaamu omulimu gwabwe.
Minister Kabuye Kyofatogabye atuuse ku mukolo guno ku saawa nga kkumi na bbiri ez谩kawungeezi, wadde ng谩bagoba ba bodaboda baabadde bamusuubira kutuuka ssaawa munaana.
Aba bodaboda bano babaddewo mu bungi, wabula minister bwatandise okwogera tawezezza budde buwanvu, ababodaboda nebatandika okwecwacwana, nga bagamba nti minister ebigambo by谩badde ayogera bibadde bibavvoola nga tebayinza kumugumiikiriza.
Basazeewo bonna nebaabulira obutebe nebalinnya bodaboda zabwe nebagenda, minister nasigalawo n谩bakuuma ddembe, n谩bannyini mizindaalo kwebabadde bogerera.
Omukulembeze w鈥檃bagoba ba Bodaboda mu Kampala Mawejje Frank ategezeza banna mawulire nti ba minister basusse okubayisa mu ngeri ezibavvoola, buli lwewabaawo ensonga ebakwatako.
Abagoba ba bodaboda bonna mu kibuga Kampala baaweebwa emyezi mukaaga okuba nga beeterezezza, bwebalemwa government eryoke esalewo eky贸kubakolera.