• Latest
  • Trending
  • All
Ababaka ba parliament ab’akakiiko k’ensimbi bagala endagaano y’okuzimba eddwaliro lye Lubowa esazibwemu

Ababaka ba parliament ab’akakiiko k’ensimbi bagala endagaano y’okuzimba eddwaliro lye Lubowa esazibwemu

April 22, 2022
Edward Muhumuza abadde munnamawulire wa NTV akiiziddwa – Ssaabapolice aweerezza obubaka

Edward Muhumuza abadde munnamawulire wa NTV akiiziddwa – Ssaabapolice aweerezza obubaka

March 27, 2023
Wakiso eyongedde okusala ku mbalirira yaayo – ssentebe atabukidde government

Wakiso eyongedde okusala ku mbalirira yaayo – ssentebe atabukidde government

March 27, 2023
Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

Obubenje butuze 67 mu wiiki emu

March 27, 2023
Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya basabye kooti eyimirize emisango gy’obutemu ejibavunaanibwa

Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya basabye kooti eyimirize emisango gy’obutemu ejibavunaanibwa

March 27, 2023
Ababbira ente mu mmotoka bakiguddeko – abatuuze bagiteekedde omuliro

Ababbira ente mu mmotoka bakiguddeko – abatuuze bagiteekedde omuliro

March 27, 2023
Amakungula gasembedde!

Amakungula gasembedde!

March 27, 2023
Namiryango College School ejaguzza emyaka 121

Namiryango College School ejaguzza emyaka 121

March 26, 2023
Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro

Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro

March 26, 2023
Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa

Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa

March 26, 2023
St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

March 25, 2023
Uganda National Students Association – obutakkaanya bweyongedde

Uganda National Students Association – obutakkaanya bweyongedde

March 25, 2023
Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

March 25, 2023
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • TOP MANAGEMENT TEAM (TMT)
    • ADMINISTRATION
    • PROGRAMMING
    • HUMAN RESOURCE/LEGAL
    • FINANCE & ACCOUNTS
    • CBSFM TECHNICAL
    • COMMERCIAL/MARKETING
    • AUDIT
    • RESEARCH
    • CBS FM DIGITAL
    • PRODUCTION AND NEWS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
  • Login
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • TOP MANAGEMENT TEAM (TMT)
    • ADMINISTRATION
    • PROGRAMMING
    • HUMAN RESOURCE/LEGAL
    • FINANCE & ACCOUNTS
    • CBSFM TECHNICAL
    • COMMERCIAL/MARKETING
    • AUDIT
    • RESEARCH
    • CBS FM DIGITAL
    • PRODUCTION AND NEWS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Ababaka ba parliament ab’akakiiko k’ensimbi bagala endagaano y’okuzimba eddwaliro lye Lubowa esazibwemu

by Namubiru Juliet
April 22, 2022
in Amawulire, Health
0 0
0
Ababaka ba parliament ab’akakiiko k’ensimbi bagala endagaano y’okuzimba eddwaliro lye Lubowa esazibwemu
0
SHARES
102
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Ababaka ba parliament ab’akakiiko k’ensimbi basisinkanye abavunaanyizibwa kukuzimba eddwaliro lye Lubowa

Ababaka ba parliament abatuula ku kakiiko akalondoola eby’ensimbi n’okuteekerateekera eggwanga bakalambidde bagala omulimu gw’okuzimba eddwaliro lya Lubowa international specialised hospital guyimirizibwe, abaakola endagaano n’abaawaayo sente basooke banoonyerezebweko.

Okuva mu 2019 wabaddewo vvaawo mpitewo mga tewali muntu akkirizibwa kugenda kulambula ekifo awazimbibwa eddwaliro lino, era ng’olwasembayo ababaka abatuula ku kakiiko ak’ebyobulamu n’omuteesiteesi omukulu mu ministry y’eby’obulamu baabagobera ku lyango nebavaayo nga batolotooma.

Ba minister beby’ensimbi abakulembeddwamu matia Kasaija  baategezezza nti okuzimba eddwaliro lino kwali kwazingama olw’omuggalo ogwaleetebwa Covid 19.

Kati bagala  liweebwe  wakiri  obuwumbi bwa shilling 319, zissibwe mu mbalirira y’omwaka ogujja.

Mu  2019 parliament yeemu yakkiriza government okwewolera musiga nsimbi  obukadde bwa dollar ya America 300, okutandika okuzimba eddwaliro lye Lubowa, era nga lyali lisuubirwa okuggwa mu bbanga lya myaka ebiri.

Okunyonyola Kwa minister tekwamatizza babaka nebasalawo basooke bagendeyo balambule, okulaba omulimu wegutuuse.

Minister  omubeezi ow’e nsimbi Henry Musaasizi aliko obujulizi bweyaleetedde ababaka obulaga nti musiga nsimbi ono government ezze emusasula ensimbi okuzimba eddwaliro lye Lubowa, era kyebagala kyekya government okutuukiriza obweyamo bwayo, balinde musiga nsimbi kutuukiriza buvunanyozibwabwe.

Ababaka nga basisinkanye abamu ku bali ku gw’okuzimba eddwaliro

Ababaka batandise okwekennenya omulimu ogwakakolebwawo, balabe obuwumbi 348 ezaasooka okuwebwayo kyezaakakola.

Ababaka olwaleero era batuuseeko mu kifo ewazimbibwa eddwaliro lino, basanze abaali bazimba omulimu baagusuulawo gwakoma mu musingi.

Kaminsona w’ebyobuzimbi mu minisitule y’ebyobulamu Ying. George Otim, ategezeezza nti omulimu ogwo ogwakakolebwawo ogw’okuzimba omusingi bakagusaasaanyizaako obukadde bwa dollar za America 11.

Minister w’ebyensimbi Matia Kasaija naye bwatuuse ewazimbibwa eddwaliro bimusobedde, n’atabukira abakulu mu ministry y’eby’obulamu, ng’ayagala banyonyole kwebabadde basinziira okumupeeka ssente kumpi buli lunaku nga tewali mulimu gukolebwa.

Wabaddewo era okusoberwa ababaka kwosa ne minister Kasaija bwebabuuziza kampuni entuufu ezimba eddwaliro lino, nga tewali agimanyi.

Omubaka wa Butambala Muwanga Kivumbi agamba nti ekigenda maaso bwandiba obulyanke obwetaaga okusooka okunoonyerezaako.

Ssentebe w’akakiiko kano ka parliament ak’ebyobulamu Keefa Kiwanuka agambye nti kyebazaako kwekunoonya ebiwandiiko byonna ebikwata ku ndagaano y’okuzimba eddwaliro.

Musiga nsimbi ono eyakwasibwa obuvunaanyizibwa bw’okuzimba eddwaliro lino erya Lubowa International specialised hospital ayitibwa Enrica Penneti,era yoomu yaweereddwa n’endagaano endala ey’okuddukanya ekirime ky’emmwanyi mu ggwanga,azimbe ekkolero erinaazisunsula zigattibweko omutindo nga tezinatundibwa bweru wa ggwanga.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Edward Muhumuza abadde munnamawulire wa NTV akiiziddwa – Ssaabapolice aweerezza obubaka
  • Wakiso eyongedde okusala ku mbalirira yaayo – ssentebe atabukidde government
  • Obubenje butuze 67 mu wiiki emu
  • Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya basabye kooti eyimirize emisango gy’obutemu ejibavunaanibwa
  • Ababbira ente mu mmotoka bakiguddeko – abatuuze bagiteekedde omuliro

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM DIGITAL.

Navigate Site

  • Home
  • News
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
  • DEPARTMENTS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
  • Events
  • CBS PARTNERS
  • Archive
  • CONTACTS

CBS FM SOCIAL PLATFORMS

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • ADMINISTRATION
  • AUDIT
  • AUXILIARY
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS FM DIGITAL
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CBSFM TECHNICAL
  • COMMERCIAL/MARKETING
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Eyeterekera Sacco
  • FINANCIAL
  • home
  • HUMAN RESOURCE/LEGAL
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • PRODUCTION AND NEWS
  • PROGRAMMING
  • RESEARCH
  • Stromme Foundation
  • TOP MANAGEMENT TEAM

Copyright © 2022 CBS FM DIGITAL.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist