• Latest
  • Trending
  • All
Jacob Oulanyah wakuweebwa ekitiibwa kya doctor mu byénjigiriza- abakulembeze ba government ezébitundu mu bukiika kkono bayisizza ebiteeso ebirala ebimusiima

Jacob Oulanyah wakuweebwa ekitiibwa kya doctor mu byénjigiriza- abakulembeze ba government ezébitundu mu bukiika kkono bayisizza ebiteeso ebirala ebimusiima

April 7, 2022
Edward Muhumuza abadde munnamawulire wa NTV akiiziddwa – Ssaabapolice aweerezza obubaka

Edward Muhumuza abadde munnamawulire wa NTV akiiziddwa – Ssaabapolice aweerezza obubaka

March 27, 2023
Wakiso eyongedde okusala ku mbalirira yaayo – ssentebe atabukidde government

Wakiso eyongedde okusala ku mbalirira yaayo – ssentebe atabukidde government

March 27, 2023
Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

Obubenje butuze 67 mu wiiki emu

March 27, 2023
Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya basabye kooti eyimirize emisango gy’obutemu ejibavunaanibwa

Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya basabye kooti eyimirize emisango gy’obutemu ejibavunaanibwa

March 27, 2023
Ababbira ente mu mmotoka bakiguddeko – abatuuze bagiteekedde omuliro

Ababbira ente mu mmotoka bakiguddeko – abatuuze bagiteekedde omuliro

March 27, 2023
Amakungula gasembedde!

Amakungula gasembedde!

March 27, 2023
Namiryango College School ejaguzza emyaka 121

Namiryango College School ejaguzza emyaka 121

March 26, 2023
Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro

Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro

March 26, 2023
Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa

Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa

March 26, 2023
St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

March 25, 2023
Uganda National Students Association – obutakkaanya bweyongedde

Uganda National Students Association – obutakkaanya bweyongedde

March 25, 2023
Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

March 25, 2023
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • TOP MANAGEMENT TEAM (TMT)
    • ADMINISTRATION
    • PROGRAMMING
    • HUMAN RESOURCE/LEGAL
    • FINANCE & ACCOUNTS
    • CBSFM TECHNICAL
    • COMMERCIAL/MARKETING
    • AUDIT
    • RESEARCH
    • CBS FM DIGITAL
    • PRODUCTION AND NEWS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
  • Login
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • TOP MANAGEMENT TEAM (TMT)
    • ADMINISTRATION
    • PROGRAMMING
    • HUMAN RESOURCE/LEGAL
    • FINANCE & ACCOUNTS
    • CBSFM TECHNICAL
    • COMMERCIAL/MARKETING
    • AUDIT
    • RESEARCH
    • CBS FM DIGITAL
    • PRODUCTION AND NEWS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Jacob Oulanyah wakuweebwa ekitiibwa kya doctor mu byénjigiriza- abakulembeze ba government ezébitundu mu bukiika kkono bayisizza ebiteeso ebirala ebimusiima

by Namubiru Juliet
April 7, 2022
in Amawulire, Politics
0 0
0
Jacob Oulanyah wakuweebwa ekitiibwa kya doctor mu byénjigiriza- abakulembeze ba government ezébitundu mu bukiika kkono bayisizza ebiteeso ebirala ebimusiima
0
SHARES
81
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Sipiika wa district ye Omoro Damascus Odongo akubirizza olukiiko lwa government ez’ebitundu olusiimye Jacob Oulanyah

Bya Ddungu Davis

Ministry y’eby’ejigiriza esazeewo okuwa abadde sipiika wa  parliament Jacob Lokori Oulanya, ekitiibwa ky’obwa Doctor, ng’akabonero akookumusiima olwóbuweerezabwe.

Minister omubeezi ow’eby’enjigiriza avunanyizibwa ku matendekero agasookerwako, Dr. Joyce Moriku Kaducu,yayanjudde enteekateeka eno, mu lukiiko lwábakulembeze ba government ezébitundu abava mu bitundu bye Lango olutudde mu maka géomugenzi agabadde azimba e Lalogi..

Ssentebe w’akabondo k’ababaka ba paalamenti abava mu district ezikola ebendobendo ly’obukiiko kkono bwa Uganda, aka Northern Uganda parliamentary forum, Anthony Akola, naye aleese ekiteeso nti ng’ayagala ekittavvu kya Jacob Oulanya Trust Fund, ssente ezikiteekebwamu zibe nga zaakuyambako abantu abava mu bendobendo lino bokka, okukwasizaako abaana abaasoomozebwa olutalo lwa Kony.

Mu ngeri yeemu Olukiiko lwábakulembeze ba government ez’ebitundu olwetabiddwamu district 30, ebibuga 3 okuli Arua, Lira, Gulu, ne municipaali zonna, ezikola ebendobendo ly’obukiika kkono bwa Uganda, luyisizza ebiteeso ebyokusiima abadde sipiika wa parliament wa Uganda Jacob L’okiri Oulanyah mu ngeri eyenjawulo.

Abadde sipiika wólukiiko luno era ye sipiika wa district ye Omoro, Odongo Damascus.

Ebiteeso ebiyisiddwa; ebitundu ebyo birina  okubaako enguudo zebabbulamu erinnya ly’omugenzi Oulanyah, ng’akabonero ak’okumujjukira n’ebirungi byakoze okugatta abantu mu bendobendo eryo.

Bagala wassibwewo ekifananyi ekyenjawulo ekinaasooka okukakasibwa akakiiko ka parliament aka parliamentary commission, kiteekebwe mu buli wofiisi ya government ez’ebitundu zonna mu bendobendo eryo,  okuva ku district okutuuka ku LC esooka, ez’ebibuga ne municipaali okwongera okumujjukira.

Ba kansala bano era bagala wabeewo n’okutongoza kawefube w’okusimba emiti mu ngeri eyeekikungo okwetoloola district zonna ku lunaku lwerumu, olw’okujjukira nti omugenzi abadde ayagala nnyo okukuuma obutonde bwensi.

Olukiiko era lwagala eddwaliro erijanjaba kkokolo erizimbibwa mu Arua, libbulwemu erinnya lya Jacob Oulanyah, nti kuba abadde afaayo nnyo ku byobulamu era nga yafudde kirwadde kya kookolo ayitibwa Lymphoma.

Abakiise abetabye lu lukiiko luno, era bategezezza nti Oulanyah yakola kinene okusobozesa government okwongeza embalirira y’ebyobulamu okutuuka wakiri ku bitundu 9%.

Mu ngeri yému bagala embalirira yébyóbulamu era eyongezebwe wakiri etuuke ku bitundu 20%.

Baagala n’ensawo y’ekittavvu ekyatandikiddwawo ekya Oulanyah Trust Fund, okutandika nómwaka ogujja government ebeeko omutemwa gwessaamu okukwasizaako abankuseere.

Ebiteeso bino bireeteddwa ssentebe wa district ye Omoro, Okello Peter Douglas, mu lutuula olwenjawulo lwebatuuzizza mu luggya lw’amaka galikwoleka, omugenzi Jacob L’okori Oulanyah gaabadde azimba mu district eno eye Omoro.

Ebiteeso bino bisembeddwa abakiise abavudde mu bendobendo lya Acholi, Lango ne West Nile.

Ayama Ben ssentebe wa district ye Adjumani yabisembye.

Ate ku lw’abatuuze abava mu district eziva mu West Nile, Baada Emmanuel Nunu yabisembye, kansala akiikirira abantu b’e ggombolola ye Moyo mu district yeemu ku lwa Abacholi, ne kansala wa district ye Omoro ne Gasper Okello, kansala w’ekitundu kya Otuke ku lukiiko lwa district eziri mu bendobendo lye Lango.

Omubaka omukyala akiikirira district ye Kole mu paalamenti, era ssentebe w’akabondo k’ababaka abava mu district ezikola ebendobendo lye Lango, Judith Alyeke, asanyudde ebiteeso by’olukiiko, nalusaba  luyise nékiteeso  nti abantu bonna balekere omu ku baana b’omugenzi Oulanyah, yaaba amuddira mu bigere ngómubaka wa Omoro ng’akabonero ak’okumusiima mu by’obufuzi.

Wabula sipiika wólukiiko Odongo Damascus, kino akigaanye agambye nti olukiikolwe terurina maanyi nabuyinza okusalawo ku nsonga eno, kyokka nti abantu mu kitundu kye Omoro bakukirowoozaako.

Olukiiko luno lwetabyemu amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa, Ssaabalamuzi wéggwanga Owiny Dollo, abóluganda lwa Oulanyah n’abatuuze.

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Edward Muhumuza abadde munnamawulire wa NTV akiiziddwa – Ssaabapolice aweerezza obubaka
  • Wakiso eyongedde okusala ku mbalirira yaayo – ssentebe atabukidde government
  • Obubenje butuze 67 mu wiiki emu
  • Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya basabye kooti eyimirize emisango gy’obutemu ejibavunaanibwa
  • Ababbira ente mu mmotoka bakiguddeko – abatuuze bagiteekedde omuliro

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM DIGITAL.

Navigate Site

  • Home
  • News
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
  • DEPARTMENTS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
  • Events
  • CBS PARTNERS
  • Archive
  • CONTACTS

CBS FM SOCIAL PLATFORMS

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • ADMINISTRATION
  • AUDIT
  • AUXILIARY
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS FM DIGITAL
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CBSFM TECHNICAL
  • COMMERCIAL/MARKETING
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Eyeterekera Sacco
  • FINANCIAL
  • home
  • HUMAN RESOURCE/LEGAL
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • PRODUCTION AND NEWS
  • PROGRAMMING
  • RESEARCH
  • Stromme Foundation
  • TOP MANAGEMENT TEAM

Copyright © 2022 CBS FM DIGITAL.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist