• Latest
  • Trending
  • All
President Museven agambye nti teyandikkirizza Jacob Oulanyah kwesimbawo mu kulonda okuyise singa yamanya ku mbeera y’obulamu bwe

President Museven agambye nti teyandikkirizza Jacob Oulanyah kwesimbawo mu kulonda okuyise singa yamanya ku mbeera y’obulamu bwe

April 6, 2022
Edward Muhumuza abadde munnamawulire wa NTV akiiziddwa – Ssaabapolice aweerezza obubaka

Edward Muhumuza abadde munnamawulire wa NTV akiiziddwa – Ssaabapolice aweerezza obubaka

March 27, 2023
Wakiso eyongedde okusala ku mbalirira yaayo – ssentebe atabukidde government

Wakiso eyongedde okusala ku mbalirira yaayo – ssentebe atabukidde government

March 27, 2023
Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

Obubenje butuze 67 mu wiiki emu

March 27, 2023
Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya basabye kooti eyimirize emisango gy’obutemu ejibavunaanibwa

Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya basabye kooti eyimirize emisango gy’obutemu ejibavunaanibwa

March 27, 2023
Ababbira ente mu mmotoka bakiguddeko – abatuuze bagiteekedde omuliro

Ababbira ente mu mmotoka bakiguddeko – abatuuze bagiteekedde omuliro

March 27, 2023
Amakungula gasembedde!

Amakungula gasembedde!

March 27, 2023
Namiryango College School ejaguzza emyaka 121

Namiryango College School ejaguzza emyaka 121

March 26, 2023
Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro

Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro

March 26, 2023
Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa

Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa

March 26, 2023
St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

March 25, 2023
Uganda National Students Association – obutakkaanya bweyongedde

Uganda National Students Association – obutakkaanya bweyongedde

March 25, 2023
Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

March 25, 2023
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • TOP MANAGEMENT TEAM (TMT)
    • ADMINISTRATION
    • PROGRAMMING
    • HUMAN RESOURCE/LEGAL
    • FINANCE & ACCOUNTS
    • CBSFM TECHNICAL
    • COMMERCIAL/MARKETING
    • AUDIT
    • RESEARCH
    • CBS FM DIGITAL
    • PRODUCTION AND NEWS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
  • Login
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • TOP MANAGEMENT TEAM (TMT)
    • ADMINISTRATION
    • PROGRAMMING
    • HUMAN RESOURCE/LEGAL
    • FINANCE & ACCOUNTS
    • CBSFM TECHNICAL
    • COMMERCIAL/MARKETING
    • AUDIT
    • RESEARCH
    • CBS FM DIGITAL
    • PRODUCTION AND NEWS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

President Museven agambye nti teyandikkirizza Jacob Oulanyah kwesimbawo mu kulonda okuyise singa yamanya ku mbeera y’obulamu bwe

by Namubiru Juliet
April 6, 2022
in Amawulire
0 0
0
President Museven agambye nti teyandikkirizza Jacob Oulanyah kwesimbawo mu kulonda okuyise singa yamanya ku mbeera y’obulamu bwe
0
SHARES
76
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
President Museven ng’akungubagira abadde sipiika Jacob Oulanyah

President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa mwenyamivu nti omugenzi Jacob Lokori Oulanyah, teyamutegeeza ku bulwadde bweyalina mu kiseera ekituufu, nga yatuuka okumanya ng’embeera esajjuse olwo yali agenze kujanjabibwa Dubai.

President Museveni agambye nti embeera omugenzi Jacob Oulanyah gyeyayisibwamu ey’okunoonya obululu obwenjawulo okuli ekifo kyobwa sipiika, ekya ssentebe wa NRM mu bukiika kkono bwa Uganda, n’okunoonya akalulu k’omubaka w’e Omoro, teyandibimukkirizza singa yali yamanya ku mbeera y’obulamu bwe.

Agambye nti yalina okusooka okulwanirira obulamu,n’agenda okujanjabibwa okusinga okwemalirira mu by’obufuzi ebyamukusaanyizza ennyo.

Alipoota z’abasawo zaalaze nti abadde atawanyizibwa ekirwadde ekya kookolo omukambwe amanyiddwa nga Lymphoma Cancer, ngono akwata ebitundu by’omubiri ebizimba obutafaali obulwanyisa endwadde mu mubiri.

Akulira eddwaliro ly’e Mulago erya Uganda Cancer Institute, Dr Orem Jackson, yasomye alipoota eyo ng’eraga nti omugenzi yafudde kirwadde kya kookolo omukambwe era kyekyaviriddeko okufa kwe.

Agambye Oulanyah yagenda okuzulwamu kkookolo ngali ku mutendera ogw’okusatu era babadde bagezaako okumusobozesa okubeerawo ekiseera ekiwanvuko ekitaasobose.

Agamba nti babadde bamusuubira okugira ng’abeerawo wakiri ebbanga lya myezi etaano,wabula ebitundu by’omubiri ebirala ng’omutima, ekibumba, akalulwe, n’ensigo byasirise kimu ku kimu olw’omubiri okuba nga gubadde tegukyaweesa butaffaali bulwanyisa ndwadde.

Dr. Olemu annyonyodde nti  olw’omuggalo ogwaleetebwa Covid 19, gwalemesa sipiika Oulanyah okugenda e Germany okulaba abasawo be, n’agira ng’ajanjabibwa e Mulago okutuusa embeera lweyatabuse nebamuddusa mu America okwongera okujjanjabwa.

Wabula  president Museveni bwabadde ayogera ku mikolo egy’okukungubagira omugenzi Jacob Lokori Oulanyah e Kololo, alabudde banna Uganda ku ndwadde ezisobola okwewalibwa nga kookolo, era avumiridde abasavuwaza ensonga z’obulwadde bw’abantu abalala.

President Museveni era alabudde akabondo kaabamu ku banna Uganda mu bendobendo ly’obukiika kkono bwa Uganda, ababadde bataddewo okwemulugunya ku nsonga ezikwata ku kunfa  y’omugenzi  Jacob Oulanya, nti basaanidde okukimanya nti abadde muweereza wa Uganda yonna sso ssi kitundu ekyo kyokka, newankubadde gyakiikirira.

Museveni era atenderezza emirimu omugenzi gyakoledde eggwanga omuli okugatta abantu n’okulwanirira eddembe ly’obuntu.

President Museven alabudde banna Uganda abazeemu nate okukulembeze enjawukana mu mawanga n’eddiini, n’okusosola abalala nti bakyewalire ddala, nti  kigenda kuzza eggwanga emabega mu byenkulakulana.

Museveni agambye nti embeera eno, omugenzi abadde afubye okujiggyawo mu Uganda, era nti abadde agezaako okuteekawo obumu mu bantu abenjawulo,nga yeewayo nnyo n’okukubaganya ebirowoozo naabo ababalowozebwa nti baabulabe

Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda The most Rev Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu, n’abakulembeze b’ekkanisa lutikko ya All Saints Nakasero mu bulabirizi bwa Kampala, bebakulembeddemu okusabira omugenzi ku kisaawe e Kololo.

Abaana b’omugenzi abakulembeddwamu Diana Aceng bogedde ku mbeera kitabwe gyayiseemu mu budde bwe obwasembyeyo,era nti yali yabagaana okwogera mu bantu ku bulwadde obubadde bumuluma.

Abakulembedde mu maaso be baana b’omugenzi Jacob Oulanyah

Abaana  bategezezza nti kitabwe weyasiriza ogw’enkomerero baaliwo mu ddwaliro, nga bamwebulunguludde,kyebataamanya nti akadde akamusiibula kaali katuuse.

Omubiri gwa Jacob Oulanyah gutwaliddwa ku kyalo Lalogi gy’azaalwa mu district ye Omoro, gyegutuusiddwa ku ssaawa kkumi na bbiri ez’akawungeezi (6:00pm).

Gutwaliddwa mu nnyonyi y’amaggye AF-639.

Kampuni ya A-plus eyakoze ku kutambuza omubiri gw’omugenzi egutuusizza e Kyambogo, nebagukwasa abasirikale ba police n’amaggye abagutadde mu nnyonyi okugutwala e Omoro.

Jacob Lokori Oulanya yazaalibwa mu 1965 era afiiridde ku myaka 57.

Wakuziikibwa ku lwokutaano lwa wiiki eno nga 8 April,2022  ku biggya bya bajjajjabe mu district ye Omoro era gyabadde akiikirira.

Minister w’ensonga z’obwa president, era ssentebe w’olukiiko oluteekateeka okuziika omugenzi mu kitiibwa, Milly Babalanda, agambye nti omugenzi wakuzikibwa mu bitibwa by’eggwanga ebijjuvu.

Sipiika wa parliament omuggya era omubaka we Bukedea, Anita Annet Among, agambye nti omugenzi afudde musanyufu olw’okutuukiriza ekirooto kye ekyokubaako sipiika wa parliament, nti  era abadde atenderezebwa nnyo mu mawanga agenjawulo olwobuweereza n’okulwanirira eddembe lyobuntu.

Ebyo nga bikyali bityo, government olwaleero okuyita mu muteesitesi omukulu mu ministry  evunanyizibwa ku bakozi ba government eya Public Service, Catherine Bitarakwate Musingwiire, ekakasizza nti olunaku olwokutaano olwokuziikirako omugenzi Jacob Lokori Oulanyah, lwakuwummula okusobozesa okumuwa ekitiibwa ekimugwanira.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Edward Muhumuza abadde munnamawulire wa NTV akiiziddwa – Ssaabapolice aweerezza obubaka
  • Wakiso eyongedde okusala ku mbalirira yaayo – ssentebe atabukidde government
  • Obubenje butuze 67 mu wiiki emu
  • Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya basabye kooti eyimirize emisango gy’obutemu ejibavunaanibwa
  • Ababbira ente mu mmotoka bakiguddeko – abatuuze bagiteekedde omuliro

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM DIGITAL.

Navigate Site

  • Home
  • News
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
  • DEPARTMENTS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
  • Events
  • CBS PARTNERS
  • Archive
  • CONTACTS

CBS FM SOCIAL PLATFORMS

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • ADMINISTRATION
  • AUDIT
  • AUXILIARY
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS FM DIGITAL
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CBSFM TECHNICAL
  • COMMERCIAL/MARKETING
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Eyeterekera Sacco
  • FINANCIAL
  • home
  • HUMAN RESOURCE/LEGAL
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • PRODUCTION AND NEWS
  • PROGRAMMING
  • RESEARCH
  • Stromme Foundation
  • TOP MANAGEMENT TEAM

Copyright © 2022 CBS FM DIGITAL.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist