• Latest
  • Trending
  • All
Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo akiise embuga neyetondera Ssaabasajja Kabaka

Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo akiise embuga neyetondera Ssaabasajja Kabaka

March 31, 2022
Amakungula gasembedde!

Amakungula gasembedde!

March 27, 2023
Namiryango College School ejaguzza emyaka 121

Namiryango College School ejaguzza emyaka 121

March 26, 2023
Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro

Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro

March 26, 2023
Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa

Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa

March 26, 2023
St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

March 25, 2023
Uganda National Students Association – obutakkaanya bweyongedde

Uganda National Students Association – obutakkaanya bweyongedde

March 25, 2023
Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

March 25, 2023
AFCO – Uganda Cranes ekubiddwa Tanzania Taifa stars

AFCO – Uganda Cranes ekubiddwa Tanzania Taifa stars

March 24, 2023
Ssaabasajja Kabaka asiimye n’asiibulula  abaddu ba Allah

Ssaabasajja Kabaka asiimye n’asiibulula abaddu ba Allah

March 24, 2023
Ababaka parliament basabiddwa okusalawo kyenkanyi ku bintu ebigasiza awamu abantu

Ababaka parliament basabiddwa okusalawo kyenkanyi ku bintu ebigasiza awamu abantu

March 24, 2023
Busiro ekikopo ky’amasaza ekiwonze eri Katonda.

Busiro ekikopo ky’amasaza ekiwonze eri Katonda.

March 24, 2023
Meteorological Authority erabudde abakozesa ennyanja – omuyaga gweyongedde

Meteorological Authority erabudde abakozesa ennyanja – omuyaga gweyongedde

March 24, 2023
  • official email
  • Login
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • TOP MANAGEMENT TEAM (TMT)
    • ADMINISTRATION
    • PROGRAMMING
    • HUMAN RESOURCE/LEGAL
    • FINANCE & ACCOUNTS
    • CBSFM TECHNICAL
    • COMMERCIAL/MARKETING
    • AUDIT
    • RESEARCH
    • CBS FM DIGITAL
    • PRODUCTION AND NEWS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo akiise embuga neyetondera Ssaabasajja Kabaka

by Namubiru Juliet
March 31, 2022
in BUGANDA, Features, News
0 0
0
Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo akiise embuga neyetondera Ssaabasajja Kabaka
0
SHARES
217
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’ayaniriza Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo nga yakatuuka mu Bulange e Mengo

Ssaabalamuzi wa Uganda Alfonse Owiny Dollo akiise embuga ku Bulange e Mengo, okwetondera Ssaabasajja Kabaka, olwébigambo bye yayogera ebivvoola Nnamulondo.

Ssabalamuzi atuuse ku Bulange e Mengo ku ssaawa 4 nékitundu, ng’awerekeddwako eyaliko president wa UPC ambassador Olala Otunu, Ralph Ochan, Peter Okwera n’abalala.

Ensisinkano eno yetabiddwamu bannaddiini okuva mu kibiina ekitaba enzikiriza ekya Inter Religious Council of Uganda abakulembeddwamu ssentebe wabwe Dr. Samuel Kazimba Mugalu, omusumba wa Kiyinda Mityana Dr. Joseph Anthony Zziwa ate era nga ye Ssentebe wabepisikoopi, omusumba Joshua Lwere, ssaabalabirizi wabadivent eyawummula Pastor Dr. John Kakembo Ssensalire n’abalala.

Ssaabalamuzi ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nómumyukawe Owek Dr. Twaha Kawaase Kigongo, omukubiriza wólukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule ne minister wémirimu gyénkizo Owek. Daudi Mpanga.

Omusumba Dr Joseph Anthony Zziwa yasomye essaala egguddewo ensisinkano eno.

Wabaddewo obufubo bwa mirundi ebiri n’ensisinkano ya mulundi gumu, eno yekkiriziddwamu bannamawulire.

Mu nsisinkano eno Katikkiro Mayiga ajulizza enjogera egamba nti  “omukwano guva mu ngabo”, nti bwatyo  Ssaabalamuzi okukola ensobi n’agikkiriza era najja neyetonda, kikolwa kya bugunjufu,kyabuntu, era tekirina wekiragira bunafu alaze nti musajja muvumu.

“Njagala okwebaza Ssaabalamuzi okubeera omwetowaze, kubanga obolyawo ffe twandibadde tugenda gyali olw’ekifo kyalimu, ng’abadde asobola n’okwogera nti mujje twogeremu,naye bwaba yasazeewo okwetowaza najja kikolwa kirungi kya bugunjufu ddala. Ssaabalamuzi nkwebaza olw’obuvumu obwo.  ’’.

Katikkiro agambye nti abantu bangi bulijjo bakola ensobi mu bikolwa ne mu bigambo,  naye abasinga tebatera kuvaayo kwetonda.

‘‘Ekikolwa kya Ssaabalamuzi kibeera kyakuyiga eri abantu bonna naddala abakulembeze”

Ssaabalamuzi Owiny Ddolo mu kwetonda kwe, yebazizza Obwakabaka okumukkiriza okujja okwetonda, era n’ategeeza nti musanyufu nti azze mu mirembe era addayo gyavudde mu mirembe.

Agambye nti alina okukkiriza nti buli nsonga zisobola okugonjoolwa mu bukakkamu, era ensisinkano ya leero nti ebadde n’amakulu mangi. (kino akizzeemu emirundi ebiri)

Ebigambo ebisitudde Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo yabyogerera mu maka g’omugenzi Jacob Oulanyah e Muyenga, nga 22 march,2022 mu kiro,wakati mu bakungubazi abaali bakuƞaanidde mu maka omwo.

Dollo yali ayogera ku bannauganda abeekalakaasa mu America nga bawakanya ekyókusaasaanya ensimbi zómuwi wómusolo okupangisa ennyonyi okutwala Jacob Oulanyah okujjanjabwa mu malwaliro geeyo.

 

Abekalakaasi baali bakutte ebipande ebisaba government okutereeza eby’obujanjabi mu Uganda, okussa eddagala mu mwaliro, okusitula omutindo gw’amalwaliro, abakungu ba government babeere nga tebaddusibwa mu malwaliro g’ebweru.

Mu kwogera kwa Ssaabalamuzi Dollo yayongerako nti “omukulembeze wammwe owénnono (gwataaayatula mannya) bweyatwalibwa e Germany mu nnyonyi yóbwa president, nebamusaasaanyizaako ensimbi zómuwi wómusolo nga temwekalakaasa”,  Neyebuuza nti abekalakaasa ku lwa Jacob Oulanyah bakikola lwakuba mucholi!

(Weyayogerera bino, waali wakayita emyezi mitono nga Ssaabasajja Kabaka agenzeeko e Germany okujanjabibwa).

Ebigambo bya Ssaabalamuzi byaviirako abantu abamu okusikuuka emmeeme, nga bagamba nti byandibadde tebyogerebwa mu kiseera kino ekyókukungubagira eyali sipiika wa parliament Jacob Oulanyah, nti era bisiga obukyayi nókusosola mu mawanga, songa Jacob Oulanyah abadde mugatta bantu.

Era Oluvannyuma Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bweyali awa obubaka bw’okukungubagira Jacob Oulanyah, yategeeza eggwanga nti ennyonyi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gyeyatambuliramu mu August wa 2021, ngágenda e Germany okufuna obujjanjabi yali ya kampuni ya KLM, sso ssi ya president nga Ssaabalamuzi bweyayogera.

 

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Amakungula gasembedde!
  • Namiryango College School ejaguzza emyaka 121
  • Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro
  • Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa
  • St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

Recent Comments

No comments to show.

News sectioning

Plugin Install : Widget Tab Post needs JNews - View Counter to be installed
  • Trending
  • Comments
  • Latest
Eggaali y’omukka etomedde abadde asala oluguudo lwayo – abadde atadde obuwuliriza mu matu

Eggaali y’omukka etomedde abadde asala oluguudo lwayo – abadde atadde obuwuliriza mu matu

July 25, 2022
KCCA efulumizza enteekateeka y’okukola enguudo 37 mu kibuga Kampala

KCCA efulumizza enteekateeka y’okukola enguudo 37 mu kibuga Kampala

December 29, 2022
Eddwaliro lyómubaka Muhammad Sseggirinya ligaddwa

Eddwaliro lyómubaka Muhammad Sseggirinya ligaddwa

December 23, 2022
Ayise omusawuzi akwate abamubbira ente – batabani be 2 bafudde

Ayise omusawuzi akwate abamubbira ente – batabani be 2 bafudde

January 31, 2023
Agambibwa okuba omulalu asangiddwa némmundu 2

Agambibwa okuba omulalu asangiddwa némmundu 2

January 20, 2023

The co-founder of Quality Chemicals dies.

0

Uganda, TOTAL Agree on Pipeline Project.

0

South Sudan reopens schools after 6-month lockdown.

0

President Yoweri Museveni is in Tanzania to sign an implementation agreement for the East Africa Crude Oil Pipeline (EACOP) project.

0

NUP Coordinator Accuses Police Of Torture

0
Amakungula gasembedde!

Amakungula gasembedde!

March 27, 2023
Namiryango College School ejaguzza emyaka 121

Namiryango College School ejaguzza emyaka 121

March 26, 2023
Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro

Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro

March 26, 2023
Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa

Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa

March 26, 2023
St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

March 25, 2023
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM DIGITAL.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • ADMINISTRATION
  • AUDIT
  • AUXILIARY
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS FM DIGITAL
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CBSFM TECHNICAL
  • COMMERCIAL/MARKETING
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Eyeterekera Sacco
  • FINANCIAL
  • home
  • HUMAN RESOURCE/LEGAL
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • PRODUCTION AND NEWS
  • PROGRAMMING
  • RESEARCH
  • Stromme Foundation
  • TOP MANAGEMENT TEAM

CBS FM SOCIAL PLATFORMS

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • ADMINISTRATION
  • AUDIT
  • AUXILIARY
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS FM DIGITAL
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CBSFM TECHNICAL
  • COMMERCIAL/MARKETING
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Eyeterekera Sacco
  • FINANCIAL
  • home
  • HUMAN RESOURCE/LEGAL
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • PRODUCTION AND NEWS
  • PROGRAMMING
  • RESEARCH
  • Stromme Foundation
  • TOP MANAGEMENT TEAM

Copyright © 2022 CBS FM DIGITAL.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist