• Latest
  • Trending
  • All
Government etandise okulowooza ku byokukyusa enambika y’obukulembeze bwa parliament

Government etandise okulowooza ku byokukyusa enambika y’obukulembeze bwa parliament

March 23, 2022
Edward Muhumuza abadde munnamawulire wa NTV akiiziddwa – Ssaabapolice aweerezza obubaka

Edward Muhumuza abadde munnamawulire wa NTV akiiziddwa – Ssaabapolice aweerezza obubaka

March 27, 2023
Wakiso eyongedde okusala ku mbalirira yaayo – ssentebe atabukidde government

Wakiso eyongedde okusala ku mbalirira yaayo – ssentebe atabukidde government

March 27, 2023
Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

Obubenje butuze 67 mu wiiki emu

March 27, 2023
Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya basabye kooti eyimirize emisango gy’obutemu ejibavunaanibwa

Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya basabye kooti eyimirize emisango gy’obutemu ejibavunaanibwa

March 27, 2023
Ababbira ente mu mmotoka bakiguddeko – abatuuze bagiteekedde omuliro

Ababbira ente mu mmotoka bakiguddeko – abatuuze bagiteekedde omuliro

March 27, 2023
Amakungula gasembedde!

Amakungula gasembedde!

March 27, 2023
Namiryango College School ejaguzza emyaka 121

Namiryango College School ejaguzza emyaka 121

March 26, 2023
Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro

Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu addusiddwa mu ddwaliro

March 26, 2023
Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa

Ettaka litabudde ab’oluganda – omu attiddwa

March 26, 2023
St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

St.Joseph’s Nyenga seminary etandise ebikujjuko by’emyaka 100

March 25, 2023
Uganda National Students Association – obutakkaanya bweyongedde

Uganda National Students Association – obutakkaanya bweyongedde

March 25, 2023
Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

Entebbe express way etuze munnamawulire wa NTV

March 25, 2023
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • TOP MANAGEMENT TEAM (TMT)
    • ADMINISTRATION
    • PROGRAMMING
    • HUMAN RESOURCE/LEGAL
    • FINANCE & ACCOUNTS
    • CBSFM TECHNICAL
    • COMMERCIAL/MARKETING
    • AUDIT
    • RESEARCH
    • CBS FM DIGITAL
    • PRODUCTION AND NEWS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
  • Login
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • TOP MANAGEMENT TEAM (TMT)
    • ADMINISTRATION
    • PROGRAMMING
    • HUMAN RESOURCE/LEGAL
    • FINANCE & ACCOUNTS
    • CBSFM TECHNICAL
    • COMMERCIAL/MARKETING
    • AUDIT
    • RESEARCH
    • CBS FM DIGITAL
    • PRODUCTION AND NEWS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Features

Government etandise okulowooza ku byokukyusa enambika y’obukulembeze bwa parliament

by Namubiru Juliet
March 23, 2022
in Features, News, Politics
0 0
0
Government etandise okulowooza ku byokukyusa enambika y’obukulembeze bwa parliament
0
SHARES
47
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Thomas Tayebwa Nampala wa government mu parliament

Government etandise okulowooza ku nnongosereza ezetaaga okukolebwa mu ssemateeka w’eggwanga, okuddamu okulambika obukulembeze bwa sipiika wa parliament.

Embeera eno evudde ku maloboozi agazzeewo, luvannyuma lwa Jacob Oulanyah okufa nebategekerawo okulonda anaamuddira mu bigere nga tanaba nakuziikibwa wadde okumukungubagira mu butongole.

Ssemateeka w’eggwanga ennyingo 82(4) ekugira palament okubaako omulimu gwonna gwekola, singa ekifo kya sipiika wa parliament kisigala nga kikalu.

Ennyingo ya ssemateeka eno, eragira palament okujjuza ekifo kino mu bwangu nga tenabaako nsonga yonna gyekolako.

Obulippo awamu n’obukwakulizo bwa ssemateeka w’eggwanga buno eyabagibwa mu mwaka gwa 1995, byaleetedde abantu okukubaganya ebirowoozo abamu nebakirambika nti bukontana n’ennono zeggwanga, eziwa bannansi omuvunanyizibwa n’omukisa okukungubagira abantu babwe ababa bavudde mu bulamu bwensi.

Parliament mu kiseera kino tesobola kubaako lutuula lwonna lwetuuza okukungubagira omugenzi Jacob Oulanyah.

Oulanyah yasookedde ddala okufiira mu ntebbe ya sipiika, ba sipiika ababaddewo bagenze bamalayo ebisanja byabwe.

Okuva Oulanyah lweyafa, ababaka ba palament abenjawulo okuli bannaNRM 13 ,nga neyabadde omumyuka wa Oualanyah ,Anita Among baamaze dda okwesowolayo okusikira Jacob Oulanya, era kakuyege wamaanyi.

Thomas Tayebwa nampala wa governement mu parliament agamba nti oluvanyuma lw’okuziika Jacob Oulanyah bakukyogeramu,obukulembeze bwa parliament buddemu bulambikibwe,nti kubanga kwaleseewo omusomooza kunene eri eggwanga.

Yadde sipiika wa parliament ye nnamba satu mu bitiibwa by’eggwanga, ssemateeka takkiriza mumyuka we kumiddira mu bigere bwaba afudde okugyako nga wabaddewo okulonda.

Ye omukulembeze weggwanga nnamba emu w’eggwanga bwafa, ssemateeka weggwanga alagira nti omumyuka we yaaba amuddira mu bigere okumala ebbanga lya myezi 6.

Era mu myezi egyo okulonda omukulembeze w’eggwanga mwekulina okukolebwa.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Edward Muhumuza abadde munnamawulire wa NTV akiiziddwa – Ssaabapolice aweerezza obubaka
  • Wakiso eyongedde okusala ku mbalirira yaayo – ssentebe atabukidde government
  • Obubenje butuze 67 mu wiiki emu
  • Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya basabye kooti eyimirize emisango gy’obutemu ejibavunaanibwa
  • Ababbira ente mu mmotoka bakiguddeko – abatuuze bagiteekedde omuliro

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM DIGITAL.

Navigate Site

  • Home
  • News
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
  • DEPARTMENTS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
  • Events
  • CBS PARTNERS
  • Archive
  • CONTACTS

CBS FM SOCIAL PLATFORMS

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • ADMINISTRATION
  • AUDIT
  • AUXILIARY
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS FM DIGITAL
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CBSFM TECHNICAL
  • COMMERCIAL/MARKETING
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Eyeterekera Sacco
  • FINANCIAL
  • home
  • HUMAN RESOURCE/LEGAL
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • PRODUCTION AND NEWS
  • PROGRAMMING
  • RESEARCH
  • Stromme Foundation
  • TOP MANAGEMENT TEAM

Copyright © 2022 CBS FM DIGITAL.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist