
Obwa Kabaka bwa Buganda bwongedde okulambika ku bikwata ku kitongole ekivunaanyizibwa ku by’ettaka ki Buganda Land Board nti kiriwo mu mateeka, era nebulabula bonna abalowooza nti kiriwo mu bukyamu nti begendereze kubanga waliwo ababawabya.
Gyebuvuddeko President Museveni yawandiikira abakunzi ba NRM ngábalagira okusomesa abantu ku mirimu gyékitongole kino,ngálumiriza nti kirimwo mu bukyamu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abadde mu Bulange Mengo ku mukolo gw’okutikkula oluwalo lwange n’akikkaatiriza, nti emirimu gya Buganda Land Board girambikiddwa bulungi mu ssemateeka w’eggwanga, etteeka ly’ebyettaka, n’etteeka erifuga zi kampuni n’ebitongole era nti yawandisibwa mu mateeka era yayita mu mitendera gyonna egirina okugobererwa okuwandiisa ebitongole, awamu n’etteeka eryakomyawo Obwakabaka.
”Buganda Land Board yateekebwawo Ssabasajja Kabaka ng’asinziira mu buyinza bwe bwalina mu nnono ne mu buwangwa” . Katikkiro Mayiga bwakkaatirizza.
Mu ngeri y’emu Katikkiro asabye gavumenti okulaga bannayuganda abatta abantu babwe mu kwekalakaasa okwaliwo nga 18 ne 19 mu mwezi gwa museenene 2020 lwebakwaata omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu bweyali atalaaga eggwanga okunoonya akalulu, nti kubanga abafiirwa abantu babwe betaaga obwenkanya.
Era avumiridde abakuuma ddembe okutta abantu abateberezebwa okuzza emisango naddala abasiraamu nagamba nti kireseewo obunkenke mu ddini yóbusiraamu nókweraliikiriza bannayuganda.
Katikkiro era asabye gavumenti okukolera awamu nóbwa Kabaka mu kulwanyisa obwaavu nókwongera amanyi mu kugema abantu eggwanga lisobole okuggulwaawo abaana baddemu okusoma obulungi ku masomero.
Abaleese oluwalo mubaddemu abe ssaza Kyaggwe, Kyadondo, Busiro, Mawokota nábantu ba ssaabasajja okuva musaza lya New England e Boston mu America ng’omugatte baleese bukadde bwa shs ataano mu bubiri mwémitwalo abiri mumusaanvu mwénkumi bbiri (52, 272,000).
Minister wa gavumenti ezébitundu era avunanyibwa ku ntambula zómutanda oweek Joseph Kawuuki asabye ababaka ba palamenti okusoosowaza ennyo ensonga za Buganda neyebaza nábantu ba Kabaka abafuddeyo mu kuzimba obwa Kabaka.
Abamu ku bakiise embuga kubaddeko omubaka wa Mukono North Kiwanuka Abudallah Mulima mayuuni, omubaka wa Busiro north Paul Nsubuga, omubaka omukyala owa Wakiso Betty Ethel Naluyima, nómubaka wéntebe Michael Kakembo.