• Latest
  • Trending
  • All

Ssaabawolereza wa gavument William Byaruhanga ayogedde kaati nti abo bonna abatwaala ebyobugagga okwaali ettaka nebizimbe ebyaali ebyabayindi, gavument byeyasasula babirina mu bumenyi bwamateeka era birina okubagibwaako bizibweeyo eri gavument.

October 28, 2020
Bus zitomereganye – abasaabaze baddusiddwa mu malwaliro

Bus zitomereganye – abasaabaze baddusiddwa mu malwaliro

March 29, 2023
Ababaka Ssegirinya ne Ssewannyana begaanye eby’okukutula ddiiru yonna n’abanene mu government

Ababaka Ssegirinya ne Ssewannyana begaanye eby’okukutula ddiiru yonna n’abanene mu government

March 29, 2023
AFCON 2024 Amawanga 6 gegaakayitawo – Uganda Cranes ekyetaaga essaala

AFCON 2024 Amawanga 6 gegaakayitawo – Uganda Cranes ekyetaaga essaala

March 29, 2023
UNBS etaddewo amateeka amaggya ku bategesi b’emikolo – egitegekebwa awaka tegitalizza

UNBS etaddewo amateeka amaggya ku bategesi b’emikolo – egitegekebwa awaka tegitalizza

March 29, 2023
IGP alabudde abapolice abasaba abategesi b’ebivvulu ssente z’obukuumi

IGP alabudde abapolice abasaba abategesi b’ebivvulu ssente z’obukuumi

March 29, 2023
Government ereeta tteeka erirambika engeri abakungu baayo gyebaziikibwamu

Government ereeta tteeka erirambika engeri abakungu baayo gyebaziikibwamu

March 29, 2023
Bekalakaasizza lwa mabaati ge Kalamoja – police ebakutte

Mawogola ne Bulemeezi bakiise embuga – baleese oluwalo oluzito

March 28, 2023
Bekalakaasizza lwa mabaati ge Kalamoja – police ebakutte

Bekalakaasizza lwa mabaati ge Kalamoja – police ebakutte

March 28, 2023
Omuyizi afiiridde mu kadduukulu

Omuyizi afiiridde mu kadduukulu

March 28, 2023
Asazeeko bba ebitundu by’ekyama – police emukutte

Asazeeko bba ebitundu by’ekyama – police emukutte

March 28, 2023
Enguudo eziri mu mbeera embi – ab’e Ngogwe bekakabye

Buli nte eweebwe endagante – Ababaka ba parliament baleeta tteeka

March 28, 2023
Abavubi baweereddwa amagezi bagendeko mu mirimu emirala – obutimba bwokeddwa

Abavubi baweereddwa amagezi bagendeko mu mirimu emirala – obutimba bwokeddwa

March 28, 2023
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • TOP MANAGEMENT TEAM (TMT)
    • ADMINISTRATION
    • PROGRAMMING
    • HUMAN RESOURCE/LEGAL
    • FINANCE & ACCOUNTS
    • CBSFM TECHNICAL
    • COMMERCIAL/MARKETING
    • AUDIT
    • RESEARCH
    • CBS FM DIGITAL
    • PRODUCTION AND NEWS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
  • Login
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • TOP MANAGEMENT TEAM (TMT)
    • ADMINISTRATION
    • PROGRAMMING
    • HUMAN RESOURCE/LEGAL
    • FINANCE & ACCOUNTS
    • CBSFM TECHNICAL
    • COMMERCIAL/MARKETING
    • AUDIT
    • RESEARCH
    • CBS FM DIGITAL
    • PRODUCTION AND NEWS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Ssaabawolereza wa gavument William Byaruhanga ayogedde kaati nti abo bonna abatwaala ebyobugagga okwaali ettaka nebizimbe ebyaali ebyabayindi, gavument byeyasasula babirina mu bumenyi bwamateeka era birina okubagibwaako bizibweeyo eri gavument.

by Elis
October 28, 2020
in Amawulire, Features, News, Opinions, Uncategorized
0 0
0
0
SHARES
12
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ssaabawolereza wa gavument William Byaruhanga ayogedde kaati nti abo bonna abatwaala ebyobugagga okwaali ettaka nebizimbe ebyaali ebyabayindi, gavument byeyasasula babirina mu bumenyi bwamateeka era birina okubagibwaako bizibweeyo eri gavument.

Waliwo nebyaapa 85 abayindi bwebaali bagobwa byebaali baasinga mu bank ezenjawulo kuno, nga babyeewolerako ensimbi, gavument eno eya NRM ngensimbi zino yazisasula mu bank zino, ebyaapa bino nga byaalina kudda mu mikono gya gavument wabula ate nebidda mu mikono gyabantu kinoomu, ate nebikolebwa nebyaapa ebyobwannanyini.

Ssabawolereza wa gavument William Byaruhanga asinzidde mu kakiiko akekiseera akali mu kunonyereza ku byobugagga bino akakulemberwa omubaka wa Makindye East Ibrahim Kasozi gyeyayitiddwa okuwabula akakiiko ku nsonga zebintu gavument byeyasasula wabula ate nebitwaalibwa abantu kinoomu, naagamba nti yetaaga obudde okutunulira kimu ku kigu, wabula bwewabaawo ekintu kyonna gavument kyeyasasula ate nekitwaalibwa abantu kinoomu, tewali kulonzalonza, kibeera kyabugagga kya gavument

Akakiiko kano bwekamubuuziza ku nsonga zobukiiko bwa district obwettaka, obuze butunda ebyobugagga ebyaali ebyabayindi songa etteeka lyettaka likugira obukiiko buno okubaako ekyobugagga kyonna bwekigaba ekigwa mu ttuluba eryo, agambye nti abakulu ku bukiiko obwo abaze batunda ebintu bino betaaga kuggalibwa bakkangavvulwe.

Ku nsonga yekyaapa nnamba 25 okusangibwa ekizimbe Kampala Boulevard ekyannagagga Sudhir Rupalleria kkooti kyeyagemulira Sudhir mu ngeri eriko ebibuuzo , Ssabawolereza wa gavument William Byaruhanga agambye nti gavument egenda kuddayo mu kkooti okuwakanya ensala ya kkooti.

Ebimu ku byobugagga ebyogerwaako, akakiiko kagamba nti kiriko ekizimbe kya Kamu kamu, ekizimbe ekisangibwa ku Plot namba emu esangibwa ku luguudo parliamentary avenue palament kweepangisiza ababaka ofiisi nebizimbe ebirala nkumo.

Minister webyensimbi Matia Kasaija ssentebbe wolukiiko olufuzi olwa Custodian Board yewuunyiza nti bulijo ate gavument esaasaanya ensimbi okusasula ensimbi zobupangisa ku bizimbe ebyaayo, naagamba nti kino abadde takimanyi naye nga bwakitegedde, kalinde alipoota yakakiiko kano gavument ajja kusa mu nkola ebinaaba bisaliddwaawo.

Akakiiko kano kasazeewo okusaaawo ttimu okuli egatta abakulu mu offiisi ya saabawolereza wa gavument namu ku babaka bano, okwetegereza ebiwandiiko byonna ebikwaata ku byobugagga naddala gavument byeyanunula okuva mu bank wabula nebitwalibwa abantu kinoomu, nga kino kigenda kukolebwa wakati wennaku zomwezi 2 ne 12 omwezi ogujja.

ShareTweetPin
Elis

Elis

Recent Posts

  • Bus zitomereganye – abasaabaze baddusiddwa mu malwaliro
  • Ababaka Ssegirinya ne Ssewannyana begaanye eby’okukutula ddiiru yonna n’abanene mu government
  • AFCON 2024 Amawanga 6 gegaakayitawo – Uganda Cranes ekyetaaga essaala
  • UNBS etaddewo amateeka amaggya ku bategesi b’emikolo – egitegekebwa awaka tegitalizza
  • IGP alabudde abapolice abasaba abategesi b’ebivvulu ssente z’obukuumi

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM DIGITAL.

Navigate Site

  • Home
  • News
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
  • DEPARTMENTS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
  • Events
  • CBS PARTNERS
  • Archive
  • CONTACTS

CBS FM SOCIAL PLATFORMS

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • TOP MANAGEMENT TEAM (TMT)
    • ADMINISTRATION
    • PROGRAMMING
    • HUMAN RESOURCE/LEGAL
    • FINANCE & ACCOUNTS
    • CBSFM TECHNICAL
    • COMMERCIAL/MARKETING
    • AUDIT
    • RESEARCH
    • CBS FM DIGITAL
    • PRODUCTION AND NEWS
  • BUGANDA
  • AUXILIARY
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS

Copyright © 2022 CBS FM DIGITAL.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist